Pookino Muleke atongoza emisinde gya Uganda Marathon- Masaka egy’ omwaka 2025

Agafa e Mengo, Ebyemizzanyo Apr 15, 2025
Share This

Bya Fred Mugwanya

Masaka – Buddu

Omwami wa Kabaka akulembera essaza Buddu, Pookino Jude Muleke atongozza emisinde Mubunabyalo gi Uganda Marathon- Masaka egy’ omwaka 2025 okwogera okusonda ssente z’ okuzimba ekisaawe ky’ essaza.

Bw’ abadde atongoza enteekateeka eno, ku mbuga y’ essaza ku Lwokubiri, Owek. Muleke asabye abantu okwetaba mu misinde gino.

Pookino akuutidde abantu be mu Buganda okwekuuma nga balamu era bbo nga Bannabuddu bagwanye okutereka ekiragiro kya Beene mu nkola.

Ku nsonga yemu Pookino asabye buli muntu waali okulaba nga agatta ettofaali ku kisaawe ekizimbibwa ekigenderedwamu okulakulanya ebitone, okutondawo emirimu naddala mu bavubuka.

Pookino Muleke yeebazizza bannamikago abenjawulo bebatambula nabo ebbanga lyonna eranga tebabasulirirdde okuli BBS terefayina, CBS radio, Pepsi, ECO bricks, Buddu FC wamu nabalala.

Emisinde gino gisuubirwa okisimbulwa Omulangira David Kintu Wassajja nga 30/05/2025 nga gyakwetabibwako abaddusi okuva mu Uganda yonna, amawanga agetoloddewo, abayizi bamasomero amakampuni wamu nebitongole nga baddukirwa mu kilo mmita 21, 10 ne 5.

LANGUAGE