Ssaabasajja awadde amasaza Ttulakita abasabye okuzirabirira obulungi

Amawulire Apr 11, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange – Mmengo

Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’awa abantu be mu masaza ag’enjawulo Ttulakita zibayambe okwongera ku bungi bwebyo byebalima era babigattako omutindo.

Okwogera bino, Katikkiro abadde mu kutongoza Ttulakita eziwereddwa amasaza 5 ezisoose nga gwe gumu ku mikolo egijaguza amazaalibwa ga Beene ag’ emyaka 70 ku Bulange e Mmengo ku Lwokutaano.

Mu bubaka buno Katikkiro ategeezezza nti, Omutanda asabye abantu be okufaayo ku ndabirira ya Ttulakita zebafunye olwo Buganda ereme kuswala.

Ow’Omumbuga Mayiga agasseeko nti Buganda yava dda nga nsi ya bulimi nga n’ebibalo bya UBOS byalaga nti abantu ebitundu 69 bayimiridde ku bulimi naabasaba okutwala ekiragiro kya Kabaka eky’okulima emmere ewera balyeko wamu n’okutundako ng’ ensonga enkulu.

Ono akubiriza abantu mu Buganda okwettanira tekinologiya aliwo ku mulembe guno mu by’okulima abayambe okumanya enkyukakyuka y’embeera y’ obudde nga tebanasiga, bafukirire ennimiro zabwe baleme kulinda sizoni.

Minisita w’ Eby’obulimi, obulunzi wamu n’obwegassi, Owek Hajji Hamis Kakomo ategeezezza nti Obwakabaka bwasalawo okulwanyisa obwavu mu bantu nga buyita  bulimi nga buyamba abantu okuyiga ennima ez’omulembe.

Owek. Kakomo agamba nti okutuukiriza kino Nnyinimu yasiima buli ssaza lifune omulimisa ng’ alina n’entambula nga kuno kati kwatadde Ttulakita okutuukiriza ekiruubirirwa kino.

Ono asabye abamasaza wamu n’obukiiko okukwata Ttulakita zino n’obwegendereza nga emirimu gyabwe bagikolera wakati mu bwerufu nga bewala emigozobani egyengeri yonna.

Ye Omukubiriza w’olukiiko lw’ amasaza, Kkangaawo Ronald Mulondo agamba nti ekitiibwa ky’ emyaka 70 egya Ssaabasajja Abaami ba Kabaka bonna bakigabanyeko butereevu okuyita mu mirimu egikoledwa mu kaseera kano.

Oweek Mulondo akakasiza nti Buganda okudda ku Ntikko tekikyanyonyolwa mu bigambo wabula ebikolwa ebikolebwa nga amalwaliro agaguddwawo, Ttulakita ezigabidwa nga byonna bigunjjawo mirimu mu bantu ba Beene.

Ssentebe wa Bboodi ya BUCADEF, Omuk. Ben Ssekamatte ategeezezza nti Ttulakita zirina ennambika enagobererwa nga waliwo abazivunaanyizibwako mubuli mbeera era bakukola kyonna okulaba nti omulimi yeeyagalira mu mulimu gwe.

 Amasaza 5 gegafunye Ttulakita zino okuli Bugerere, Mawokota, Kooki, Mawogola ne Buweekula nga zaaguliddwa mu Kampuni ya Akamba Uganda Limited eddukanyizibwa, Owek Muhamood Thobani.

Omukolo guno gwetabiddwako bannamikago okuva mu NARO, Stanbic bank, Grain pulse Ltd, baminisita ba Kabaka, abami ba masaza, abalimisa, abayizi n’abantu abalala.

LANGUAGE