
Bya Gerald Mulindwa
Busimbi – Ssingo
Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alagidde bannansi go okuswala eby’ obulamu byabwe nga ensonga enkulu bwebaba Baagala okugenda mu maaso.
Obubaka bwa Maasomoogi buno busomeddwa Nnaalinnya Sarah Kagere ku mukolo gw’okuggulawo eddwaliro ly’Obwakabaka erya Muteesa II ku mbuga ye Ggombolola Busimbi e Mityana mu Ssingo ku Lwokubiri.
Nnyinimu mu bujjuvu agambye bwati;
Mbalamusizza mwenna era mbeebaza emirimu gye mukolera obuganda. Twebaza Katonda olw’emyaka 70 gyatutuusizzaako.
Bannassingo tubeebaza olw’okuwagira n’okujjumbira enteekateeka z’obwakabaka zonna. Mwebale okutambulira ku nnambika ezibaweebwa l, era n’obutagendera ku bya bannakigwanyizi.
Obulamu bwammwe kikulu nnyo eri mmwe, n’eri obwakabaka kyetwava tusalawo okubasembereza eby’obulamu wano e Busimbi.
Tubakubiriza okwettanira ennyo enteekateeka z’ebyobulamu.
Mwegemese, mwekebeze era mwejjanjabisenga bulijjo endwadde ez’enjawulo mu ngeri esaanidde nga mweyambisa abasawo abatendeke.

Tujja kufuba okulaba ng’obuweereza mu by’obujjanjabi bwe munaafunira mu kizimbe ky’Eddwaliro Muteesa II ddala buba bwa mutindo.
Twebaza nnyo abatambuzza omulimu guno, abateeseteese omukolo n’abatusanyusizza mwenna.