Bya Gerald Mulindwa
Wankulukuku – Kyaddondo

Okulamala ennaku 2, ekitongole ki Kabaka Foundation kikubye olusiisira lw’ebyobulamu ku kisaawe e Wankulukuku abantu mwe bafunidde empeereza z’ebyobulamu ez’enjawulo omuli okukeberebwa, okujjanjabibwa, okuweebwa eddagala n’endala.
Bannakyaddondwa beyanzizza Ssaabasajja Kabaka olw’okubawa obujjanjabi obw’obwereere mu nteekateeka ya Tubeere Balamu Health Campaign, nga abantu nkumi na nkumi be baganyuddwa era bano basabye gavumenti okwongera okutumbula eby’obulamu nga balabira ku Ssaabasajja Kabaka bwakolera entakera.
Ng’oggyeko okujjanjaba abantu ba Beene essira lyongedde okuteekebwa ne ku kusomesa abantu ba Buganda ku ndwadde ezibasumbuwa naddala ez’ekuusa ku bukosefu bw’emitwe ezizze zeyongera, endwadde ezewalika nga Mukenenya n’endala.

Dr. Wamala David okuva mu ddwaliro ekkulu e Mulago alabudde abavubuka ku kabaate k’obulwadde bwa “Stroke” obweyongedde ennyo mu ggwanga ate nga busobola okwewalika.
Ssenkulu w’ekitongole kya Kabaka Foundation Omuk. Edward Kaggwa Ndagala, yeebazizza abavujjirizi bonna abaasalawo okutambula ne Ssaabasajja Kabaka mu kutumbula eby’obulamu nga bayita mu kaweefube wa Tubeere Balamu.
Essaza Kyaddondo liwezezza omuwendo gwa masaza ana (4) agakatuusibwamu kaweefube wa Tubeere Balamu, ono yatandikira Buddu, nadda e Busiro, Ssingo, kati ne Kyaddondo. Enteekateeka eno ekyatambuziddwa okutuusibwa mu masaza gonna aga Buganda.
