Tudde ku nnono mu nkuza y’abaana n’okubagunjula – Minisita Nabakooba

Amawulire Mar 12, 2025
Share This

Bya Ssemakula John

Mwera – Busujju

Minisita w’Ebyettaka mu Gavumenti Eyawakati, Hon. Judith Nalule Nabakooba asabye abazadde okudda ku nnono mu nkuza n’entegeka y’abaana basobole okubagunjula obulungi n’ensi ebanguyire.

Obubaka buno Minisita Nabakooba abuweeredde ku mukolo gw’okukuza olunaku lw’Abakyala mu Ssaza Busujju ku Lwokubiri ku mbuga y’eSsaza e Mwera.

Nabakooba agamba nti abakyala be bannakazadde b’eggwanga n’abasaba bulijjo okugunjula abaana nga basinziira ku nnono ey’edda olwo lwe tunaasobola okufuna abaana abalimu ensa era abanaayamba eggwanga Uganda wamu n’Obuganda.

Abasabye okukozesa obulungi omukisa gwe balina nga beenyigira mu nteekateeka za Gavumenti okusobola okutumbula ebyenfuna byabwe, okwekebeza endwadde, okwewala obutabanguko, okukuuma ettaka n’obutakulembeza mwenkanonkano nga bajjukira nti ekitonde ekikazi kifugibwa kitonde kisajja.

Minisita Nabaakoba yasabye Abaami okusigaza obuvunaanyizibwa bw’okulabirira bakyala baabwe n’okubawagira mu bye bakola naddala ebikulaakulanya amaka gaabwe.

Ye Minisita w’Obwakabaka avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu Owek. Mariam Mayanja Nkalubo mu bubaka bwatisse akulira ekitongole ky’abakyala mu Ssaza Bulemeezi, Muky. Nassanga Musoke asabye abakyala okunyweza omusingi gw’amaka nga basiga mu baana baabwe empisa ez’obuntubulamu, eddiini wamu n’okubateekateeka okusobola okwangaanga ebizibu ebiyinza okubalumba.

Omwami wa Kabaka atwala essaza lino,  Kasujju Israel Lubega Maaso abakyala  abasabye  okubeera omumuli gw’essaza lino  era beenyigire mu mirimu gyonna egivaamu ensimbi n’okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka zonna.

Mu kusooka, wabaddewo okulambula amaka ag’enjawulo mu nteekateeka y’amaka amalungi era nga Muky. Nabbanja Kevina, Nnamwandu Ddungu( Maama wa Faaza Ssesaazi) ne Eden Farm Supply (eya Fr. Mubiru) bye bifo ebyalambuddwa.

Omukolo guno gwetabiddwako Minisita w’Eby’enjigiriza mu Bwakabaka bwa Buganda, Owek. Cotilda Nakate Kikomeko, Abamyuka ba Kasujju n’olukiiko lwa Executive, Kasujju Omuwummuze – Owek. Mark Jjingo Kaberenge II, Hon. Joyce Bagala Ntwatwa, Vice Chairperson LCV Mityana Disitulikiti n’abantu ba Beene abalala bangi.

LANGUAGE