
Bya Shafik Miiro
Kampala
Kkampuni y’Obwakabaka eya Yinsuwa eya Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd. etegeezezza nti etegeka okuteeka amatabi mu buli ssaza lya Buganda okwanguyiza bannayuganda n’okubasembereza empeereza.
Kino kibikuddwa Ssentebe w’olukiiko olufuzi, Omuk. Evelyn Kigozi Kahiigi, bw’ abadde mu lutuula lw’olukiiko olufuzi olw’ekitongole kino olutudde e Kira mu Kyaddondo ku Lwokutaano.
“Omwaka oguwedde twatongoza enkola ya Munno mu kabi n’ettabi lyaffe mu Ssaza Buddu, era tutambula bulungi, kati ate mu mwaka guno twagala okubunyisa matabi gaffe n’empeereza za yinsuwa ez’enjawulo mu Masaza ga Buganda gonna” Omuk. Evelyn Kigozi Kahiigi, Ssentebe w’olukiiko olufuzi bw’ategeezezza.
Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kaawaase Kigongo ng’ono awadde omusomo eri ba mmemba ku bboodi eno ku ngeri y’okutambuzaamu emirimu gy’ekitongole kya yinsuwa ekikula era nokwongera okukimanyisa ensi.
Owek. Kaawaase abakubirizza okugoberera emitendera gyonna egyetaagisa mu kutambuza emirimu gy’ekitongole nga kya Bwakabaka ate n’okutuukiriza ebisaanyizo ebisabibwa ebitongole ebirungamya kkampuni za yinsuwa.
Abasabye okukuuma ekitiibwa ky’ekitongole, buli mmemba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe, okusoosowaza ebyo abantu bye baagala mu kkampuni za yinsuwa nga banyweza obwesige, obwerufu n’obwenkanya mu nkola y’emirimu.
Prof. Kaawaase abeebazizza olw’bujjumbize mu nteekateeka z’Obwakabaka ng’akabonero akalaga nti bakola ekisoboka okumanyisa abantu ba Kabaka obuweereza obw’enjawulo bwe balina.
Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa naye eyeetabye mu lusirika luno, yebazizza ab’olukiiko lwa bboodi olw’okukola emirimu gy’ekitongole mu mbeera ey’okwewaayo n’okwerekereza.

Owek. Nsibirwa atenderezza engeri ekitongole gye kikula buli mwaka era kino akyesigamiza ku buyiiya n’okulemerako ebyeyolekera mu bakozi b’ekitongole okuviira ddala ku Ssenkulu.
Abakubirizza okwongera okunnyikiza obuyiiya nga bateekawo ebyo ebitabadde mu katale ka yinsuwa, ng’akikaatiriza nti obuyiiya bwe bufudde Weerinde kkampuni ey’enjawulo mu katale ka yinsuwa.
Ssentebe w’Olukiiko olufuzi, Omukungu Evelyn Kigozi Kahiigi awadde alipoota y’ekitongole ey’omwaka ogukubiddwa amabega n’ayanjula n’ezimu ku nteekateeka ezitunuuliddwa mu mwaka omuggya.
Ono akowoodde abantu ba Buganda okwongera okwettanira yinsuwa kubanga emiganyulo mingi gy’ereeta egiyamba abantu mu biseera eby’obwetaavu.
Olusirika luno lwetabiddwamu bammemba ba bboodi y’ekitongole kino wamu n’abamu ku bakozi abakola emirimu egiyimirizaawo ekitongole buli lunaku nga bano bakulembeddwamu Ssenkulu w’ekitongole, Omuk. Jennifer Mirembe Sswesuwa.