
Omumyuka wa Kaggo owookubiri Oweek Dr Phiona Nakalinda Kalinda agamba nti mu ngeri ya atega ogumu taliira yasalawo obusawo okubugattako okulima emmwaanyi, ennyaanya wamu n’Ebitooke. Dr. Nakalinda ategeezezza Pauline Nanyonjo owa Gambuuze ekyama kiri mu nkumbi era namuyitirako ku ngeri gyatambuzaamu obulamu okuteekawo enjawulo.
Owek. Nsaba otegeeza ensi Dr. Phiona Nakalinda Kalinda y’ani?
Owek. Kalinda : Nze Dr. Phiona Nakalinda Kalinda nga nzaalibwa mu maka g’omugenzi Cranmer Kalinda eyali omuwandiisi w’ebitabo era nze mwana we asooka. Emisomo nagitandikira ku Gayaza Junior school gyenatuulira eky’omusanvu mu 1978. Neegatta ku Gayaza High gyeyasomera siniya esooka okutuuka ey’omukaaga wakati wa 1979-1985 era nempita bulungi.
Oluvannyuma neeyunga ku Ssettendekero wa Makerere University gyenafuna ddiguli yange eyasooka mu busawo mu 1986. Naddamu n’ensonga era nenfuna ddiguli endala mu nzijanjaba y’abaana (Tropical Child Health) ng’eno nagifunira mu Liverpool University.
Wano nagattako ‘Masters Degree’ mu Public Health okuva mu University of California e San Diego era bwentyo nenkenkuka mukujjanjaba Mukenenya.
Oli mukyala muyivu, okwasaganya otya amaka n’emirimu wamu n’obuweereza bwa Beene?
Dr Nakalinda : Okutendekebwa kwenafuna okuva mu bakadde bange kunyambye nnyo kubanga okuva obuto nnali mwana mukozi era saakolanga mulimu gumu, nakolanga ebintu bingi eby’obuyiiya. Bakadde bange batendeka okukuuma obudde era n’okubugabanya mu mirimu egy’enjawulo gyentekeddwa okukola.
Obwadokita obukolera wa oba wabuwummula?
Dr. Kalinda: Nkolera mu ddwaliro lya UMC Victoria Hospital e Bukoto wamu n’okulima emmwanyi, ennyaanya wamu n’ebitooke mu bitundu okuli Zirobwe, Katosi ne Ssemuto mu Bulemeezi.
Wajja otya okwegatta ku buweereza bw’Embuga?
Dr: Kalinda : Omwaka gwali 2007 nenegatta ku kitongole ky’ebyobulamu mu Bwakabaka wansi wa Minisita Ben Mukwaya eyali ssentebe wa bboodi y’ebyobulamu. Eno gyenava nenfuuka ow’ebyobulamu mu ssaza Kyaddondo. Eno Beene gyeyasiimira nanjatula erinnya ng’ omumyuka wa Kaggo mu 2023. Okwagala obuweereza bwa Kabaka nakijja ku kitange Cranmer Kalinda era yeyanjigiriza okwagala Buganda era bwentyo nange nayagala nkozese obukugu bwange mbeeko ettofaali lyengattako.
Amawulire g’Empologoma okukwatula erinnya gakusangawa era Olowooza lwaki linnya lyo lyelyayatulwa?
Dr. Kalinda: Kino nnali sikisuubira kuba nemu ggwanga saalimu era bwenagafuna saasooka kugakkiriza. Kabaka ye Maasomoogi era alabira wala era ndowooza yamanyi ensonga lwaki Yalonda nze.
Amaanyi go ng’omukyala omukulembeze geekwese wa era obuweereza buno obulabye otya?
Owek. Kalinda : Amaanyi gange gali mu bantu beekola nabo awamu n’okwetowaza era ngezaako nnyo okuguza abantu bembeera nkulembera ekirowoozo kyembeera nina tusobole okutambulira awamu. Okuggusa emirimu nekwata kwabo abalina obukugu olwo nange nensobola okubaako byenjiga.
Ku nsonga y’obuweereza bakama bange ku ssaza okuli Kaggo Ahmed Magandazi Matovu, n’omumyuka Asooka Owek Ronald Mpagi, Abaami b’ Eggombolola wamu n’Ebitongole bonna bamuyambye okwanguyirwa emirimu so nga ne Famire ye ebadde mpagi nnyo mu buweereza buno.
Osoosowazizza otya omukyala mu ssaza Kyaddondo?
Dr. Kalinda: Twakwatagana nakulira abakyala mu ssaza Kyaddondo, Agnes Kimbugwe netukkaanya tuyitimuse omutindo gw’abakyala nga tuyita mu Tekinologiya. Tulina enteekateeka z’okubangula abakyala mu bukulembeze nemu mirimu egivaamu ensimbi. Tubasomesezza okwewala obusambatuko mu maka era twagala okulaba nti mu nteekateeka zino nga nezimu zatandika dda tetubeerako mukyala yenna asigala mabega.
Olina kalowoozo ki eri abawala b’omulembe guno Omutebi?
Dr. Kalinda: Abaana abawala mwewale okumaguka n’okululunkanira ebyensi nga amasimu amalungi naye mukimanye nti ebirungi biri mu maaso. Akawuka mu kiseera kino kasinga kukwata bavubuka naddala abawala. Mbasaba okwesonyiwa eby’okuganza naddala abasajja abakulu era baleme kulowooleza mu kubawa naye bakola ensimbi zabwe ez’ekikazi.