Obwakabaka bukubagizza ab’enju y’Owek. Agnes Nabulya Nkugwa

Amawulire Mar 06, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mityana – Ssingo

Obwakabaka bukubagizza ab’Enju y’omugenzi, Owek. Agnes Nabulya Nkugwa eyali akulira abakyala mu Ssaza Ssingo, ate nga mukiise mu lukiiko lwa Buganda Olukulu, eyafa gye buvuddeko nebumutendereza olw’okwagala ensi ye Buganda.

Bino bibaddewo ku Lwokusatu, Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n’ensonga za Woofiisi ya Katikkiro, Owek Noah Kiyimba, bw’abadde agenze mu maka g’omugenzi mu Munisipaali ye Mityana mu Ssingo okubasaasira n’okutwala olubugo lw’Obwakabaka olutongole.

Owek. Kiyimba yebazizza emirimu Owek. Agnes Nkugwa gyakoledde e Ssaza Ssingo wamu n’Obuganda bwonna era n’ategeeza nti Obwakabaka bwa kusigala nga butambulira wamu n’ab’Enju y’omugenzi mu buli ngeri yonna.

Minisita Kiyimba asinzidde eno n’asaba abantu ba Ssaabasajja okunyiikira okwekebeza endwadde kibayambe okumanya bwe bayimiridde era n’okufuna obujjanjabi obutuufu mu budde.

Agumizza ab’Enju okuba abanywevu nga omugenzi bw’abadde omumalirivu, omujjumbize, mu mirimu gy’e Mmengo ne Ssaza.

Muwala w’omugenzi, Afande Namuli Victoria, annyonnyodde ku nfa ya nnyabwe eyali ey’ekikangabwa wabula naamutendereza olw’okubayigiriza okukuuma obumu, Empisa, okukola e nnyo ssaako n’okwagalana.

Abakyala abatuula ku lukiiko lw’Abakyala olw’e Ssaza Omugenzi Oweek. Agnes Nabulya Nkugwa lw’eyali akulira, nabo babaddewo era boogedde ku mugenzi ng’omuntu eyayagala ennyo Obuganda.

LANGUAGE