Okukuza Olunaku lw’Okusoma

Amawulire Sep 08, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Kakeeka – Kyaddondo

Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku Nsi yonna okukuza olunaku lw’Okusoma, omukolo guyindidde ku Ssetendekero wa Muteesa I Royal University e Kakeeka Mengo.

“Olulimi oluganda bwe busika bwaffe era ly’essuubi lyaffe ery’enkya” Guno gwe gubadde omulamwa g’Obwakabaka bwa Buganda mu kwefumiitiriza ku lunaku lw’okusoma mu nsi yonna.

Minisita w’Obuwangwa ennono n’obulambuzi, Oweek Dr. Anthony Wamala, nga y’abadde omugenyi omukulu, alaze obwennyamivu olw’olulimi oluganda okuddirira buli lukya ate ng’abantu tebeefiirayo kwongeramu maanyi okulaba nga balukuuma. Awadde eky’okulabirako eky’empandiika y’amannya n’ebigambo naddala ku ‘bizinesi’ z’abantu nti bye bawandiika bikyusa amakulu ge baagala okutegeeza eri abaguzi, era n’akikaatiriza nti olulimi ly’eggwanga kubanga lwe lugyayo embeera n’enneeyisa y’abantu mu kitundu ekimu.

Minisita Wamala akukkulumidde abazadde abalaga obukambwe obususse eri amasomero ge bagamba nti tegayigiriza bulungi baana baabwe luzungu era ne basalawo okubatwala mu masomero amalala mbu boogere nnyo oluzungu kyokka bwekituuka ku luganda ne bafuuka kyesirikidde olwo omwana n’akula nga tasobola kwogera lulimi lwe mu butuufu bw’alwo. Minisita wano w’asinzidde n’asaba abantu bawandiike ebitabo ku lulimi oluganda kiyambeko okulukuuma obutasaanawo.

Ssali Damascus, omuweereza ku laadiyo CBS, nga y’abadde omusomesa omukulu, ategeezezza nti okusobola okukuuma olulimi oluzaaliranwa, omuntu alina okusooka okumanya okulwogera, okulwatula obulungi kubanga mu butonde olulimi ye muntu. Annyonnyodde nti okubaawo kw’omuntu kuwanuuzibwa okuviira ddala mu lulimi lwe.

Akulira ssentendekero wa Muteesa I Royal University, Prof. Vincent Kakembo, agambye nti nga bayita ku mitimbagano, ssettendekero ono ataddewo amasomo g’oluganda okusomesa abantu ba Kabaka ebweru wa Uganda basobole okulusoma ate n’abaana abazaaliddwa eyo basobole okulutegeera.

LANGUAGE