Mawokota esitukidde mu mpaka z’Amaato ga Buganda 2026

Amawulire Aug 22, 2026
Share This

Obuganda nga bukyali mu bikujjuko by’okujjukira Amatikkira ga Kabaka omulundi agwa 33, Obwakabaka nga buyita mu minisitule y’abavubuka emizannyo wamu n’ebitone, buteeseteese empaka z’amaato mu ssaza mawokota Bunjako beach nga zivuganyiziddwa mu masaza ga Buganda.

Kamalabyonna wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga nga y’abadde omugenyi omukulu ku mukolo guno.

“Emizannyo gy’okumazzi gya dda nnyo wano mu Buganda ssi gya biseera bino gya dda nnyo, Kabaka yabanga n’eggye ku nnyanja eno era Kabaka Muteesa I abazungu bwe bajja, yalina amaato agasoba mu mutwalo amalwanyi ku nnyanja eno Nnalubaale” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro era ayongedde n’annyonyola obukulu bwe’nnyanja eri Obwakabaka nti kubanga ne Kabaka Mwanga II yayagalanga nnyo amazzi olw’ensonga yageyambisanga okwewumuzaamu, yateranga okuwunguka n’agendako mu bizinga e bulingogwa okwewumuzaamu, eyo nga n’amaato ag’empaka gazanyibwanga okusanyusa abantu.

“Okutegeka emizannyo gy’okumazzi kya mukisa munene era nga bw emuwulidde bwe giteekebwateekebwa obulungi, gisobola okubeera egy’omugaso eri bano abagyetabamu , naye n’abalala abakolerako emirimu egy’enjawulo kubanga abantu baagala nnyo okuwummulira ku mazzi” Katikkiro Mayiga.

Ye Minisita w’Ebyemizannyo mu Buganda Owek. Robert Serwanga Ssaalongo, yebazizza abantu olw’okwerekereza emirimu gyabwe ne beyiwa mu bungi okwerolera empaka zino, azizzaamu abantu ba Kabaka amaanyi nti empaka zino zaakubeerangawo buli mwaka nga bwekyali edda.

“Nneebaza nnyo abantu ba Kabaka abavudde mu masaza agenjawulo okwewaayo ne mujja tusobole okukuza omuzannyo guno, era nga tujja kuba tuzanyanga omuzannyo gumu buli mwaka ku mwaka kubanga omuzannyo guno gwa maanyi wano mu Buganda” Minisita Serwanga.

Minisita alambuludde omuti amaato gano agavugiddwa mwegakolebwa era agamba nti amaato gano gakoleddwa mu muti oguyitibwa omukebu kubanga omuti guno tegumala gavunda ate era gusinga kusangibwa mu butundu ebiriraanye ennyanja.

Omukulu w’Ekika ky’e Mmamba Omutaka Gabunga Mubiru Zziikwa, mu bubaka obwamutikiddwa Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Omutaka Nnamwama Augustine Kizito Mutumba, yebazizza nnyo abavubuka olw’omutima gwe balina eri Buganda era n’abasaba obutakoowa kwagala buwangwa bwabwe.

Ssentebe w’enteekateeka eno Eng. Ben Misagga yebazizza Obwakabaka olw’okumuwa omukisa ye n’akakiiko ke okuteekateeka empaka zino, era agamba nti tezisaana kuzanyibwa kyokka, wabula zisaana okuba egimu ku mizannyo egivaamu ensimbi, ezinasobozesa abantu okwekulaakulanya wamu n’Obwakabaka okutwalira awamu.

Empaka zino zibadde mu ssaza mawokota ku bunjako beach, era essaza mawokota lye lisitukidde mu mpaka zino ne liweebwa ssedume w’ente nga liddiriddwa Buweekula, baweereddwa kimeeme w’embuzi n’amasaza amalala ne gaddirira.

LANGUAGE