Katikkiro Atongozza Bboodi ya BUCADEF n’e Mmwanyi Terimba Empya
Katikkiro Charles Peter Mayiga atongozza boodi y’ekitongole BUCADEF ne Mmwanyi Terimba, ezigenda okuddukanya emirimu gy’ebitongole ebyo.
Katikkiro agamba nti tosobola kukulaakulanya ggwanga nga tosookedde ku bantu abaasookerwako era ekyo kye kyatandisaawo BUCADEF.
“Twagala okuleeta essuubi mu bantu era emmere, okulunda, birabiddwako nga BUCADEF ebinnyikizza mu bantu. Abaana okwambala engatto kabonero akalaga nti waliwo enjawulo y’eby’enfuna mu bantu”.
Katikkiro ku Mmwanyi terimba agambye nti “twayagala tuyingire akatale tumanye ebiri mu katale naffe tuzisuubule kubanga azisuubula afunamu nnyo okusinga azirima”.
Asabye aba mmwanyi terimba baganjise okunywa kaawa ekyo ky’ekijja okuyambako okufuna ssente mu mmwanyi.
“Kaawa mulungi, abaana abato mubakubirize bamunywe, akuuma omubiri, atereeza ebirowoozo okubeera awamu, kino kijja kwongera okuleeta ssente kubanga abanywa kaawa bajja kuba beeyongedde”.

Katikkiro akunze abalimi okusitula omutindo nga bakola emirimu mu ngeri esinga okuba eya waggulu.
Mu buweereza bwabwe abasabye bakozese obuyiya, obwerufu, era bakole n’okwagala.
Abeebazizza okukkiriza obuweereza, n’akinogaanya nti okuzimba Buganda kwaffe ffenna, abo abalina obumalirivu n’okwagala okuweereza tubeebaza nnyo.
Bboodi ya mmwanyi terimba etongozeddwa:
1) Omuk. Daniel Damulira – Ssentebe
2). Omuk. Dr. Geoffrey Ssebaggaka Lusiba – amyuka Ssentebe.
3). Omuk. Godfrey Jooga Ssebakulu – Mukiise
4). Omuk. Isaac Ssambwa Kakyama – Mukiise
5). Omuk. Harriet Nsubuga Mpanga – Mukiise
6). Omuk. Fred Luzinda Mukasa – Mukiise
7). Omuk. Dr. Fawz Nassir Mulumba – Mukiise
Bboodi ya BUCADEF
1). Omuk. Dr. Ben Muyinza Ssekamatte – Ssentebe
2). Omuk. Rosette Nabbumba – Amyuka Ssentebe.
3). Omuk. Edward Ssenkindu – Mukiise
4). Omuk. Dr. Emma Naluyima – Mukiise
5). Omuk. Jenna Kirabo – Mukiise.
6). Omuk. Francis Kisirinya – Mukiise.
7). Omuk. Adris Kamuli – Mukiise.






