Amawulire

Amasazza Ssingo, Buvuma, Kabula N’E Buddu Galeese Oluwalo Lwa Bukadde 28.

Amassaza okuli Ssingo, Buvuma, Kabula n’e Buddu galeese Oluwalo embuga, nga luwera shillingi obukadde 28,050,000/=. Ensimbi zino ziyambako okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka.

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Anthony Wamala y’akiikiridde Katikkiro.

Bw’abadde atikkula Oluwalo luno yeebazizza abantu ba Beene olw’okujumbira emirimu gy’Obwakabaka, omuli n’Emipiira gy’Amasaza.

Akulisizzaayo Banna Kyaggwe olw’okuwangula Ekikopo ky’Amasaza 2026 omulundi gwabwe ogwasookedde ddala.

Asabye buli muntu okufaayo ennyo ku bika byabwe, nga bajjumbira emirimu egikolebwayo, Buganda ey’omu maaso ebeere ntangaavu.

Asabye abazadde okwetegekera obulungi abaana babwe abakomawo ewaka mu luwummula oluwanvu, okubakuuma obulungi era n’okubakwata ng’abaana, nga babagunjula bulungi okuvaamu abantu ab’omugaso kubanga buvunaanyizibwa bwabwe ng’abazadde teri muntu mulala yenna alina kukibakolera.

Oweek. Joseph Kawuki, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu mu Bwakabaka, ayagalizza abayizi bonna abatuula ebigezo ku mitendera gyonna obuwanguzi, era n’ayozaayoza Essaza Kyaggwe olw’okutuuka ku Bwa Nnantamegwa.

Abantu ba Beene bategeezezza nti buli omu alina eddimu okuzimba Buganda okudda ku ntikko, era akubirizza abazadde okugunjula abaana babwe obulungi.

Wadde waliwo ebbula ly’ebyenfuna mu nnaku zino, abakuutidde okukola ennyo naye nga bakekkereza ku nsaasaanya mu bintu bye bakola mu bulamu bwabwe.

Omugabe w’Olunaku Kiberu Henry, Omumyuka Asooka owa Mbuubi, asanyukidde ekya Gavumenti olw’okuddamu okubakkiriza okuvuba Mukene abantu beekulaakulanye, era wabeewo okusitula omutindo mu Bantu ba Buvuma. 

Yeebazizza nnyo n’olw’Ensisira z’ebyobulamu ezikubwa mu bitundu ebye njawulo mu Masaza, kubanga kyogedde okutumbula eby’obulamu mu bantu ba Kabaka.

Mu ngeri y’emu, Essaza North East Coast America ( New York, New Jersey, Delaware ne Pennsyslvania) erikulemberewa Oweek. Wycliff Lule Musoke liwagidde omulimu gw’Eddwaliro ly’okumazzi ne Ssente ddoola $3370, mu za Uganda ( 14,520,000).

Abalala abawadde oluwalo bayimiridde bwebati.

Mutuba XII Gayaza, Ssaza Ssingo, 6.25M

Mumyuka Bugaya, Ssaza Buvuma, 2.3M

Mutuba XVIII, Kibinge, 2M

MUMSA High School 2,480,000

Mumyuka Kasagama, Ssaza Kabula, Emitwalo 50. 

LANGUAGE