Katikkiro Akunze Ab’E Ssese Ku Bwegassi Anti Agali Awamu!

Katikkiro akuutidde abantu b’e Ssese okwettanira ebibiina by’obwegassi basobole okugoba obwavu.
Bino abyogeredde ku mbuga y’e Ssaza Ssese bwabadde asisinkanye ebibiina bya CBS Pewosa eby’obwegassi, era agguddewo Woofiisi y’ettabi lino mu butongole.

Mu kwogera kwe, akwesigamizzza ku njogera ezigamba nti, “Ayagala okutuuka amangu atambula yekka, ayagala okutuuka ewala atambula ne banne”, Buyise bwomu Nsega y’ebika, ne Agali awamu ge galuma ennyama”.

“Naye ekisinga okutuswaza mu Buganda bwe bwavu, kyetuva tubagamba okulima emmwanyi, amatooke, okulunda Ente ya Kabaka, n’okuliikiriza ettaka kikulu kubanga ettaka likaddiye, byonna ebyo bigenderera kulwanyisa bwavu n’olwekyo Kabaka kwekuleeta cbs Pewosa twegatte tulwanire wamu. Bwemutaakole ebyo, bwe muteegatte kiyinza okuba ekizibu okugoba obwavu”.
Katikkiro ayongeddeko nti “Ekitusabisa federo ffe tufune obuyinza okukuuma ebyaffe”.
Kamalabyonna agamba nti mu bwegassi abantu batereka wamu naye ekisinga obukulu kiri mu njogera ya “Abayita ababiri bejjukanya”.
“N’olwekyo ndi musanyufu e Ssese enteekateeka ezigoba obwavu nzirabyeko n’amaaso gange. Okubaddingana tulina okulaba nga tuzimba Ssese edde ku ntikko kubanga ssese y’ensibuko ya Buganda.
Eri abakulira Pewosa, Katikkiro abasabye bakozese obwerufu, obuyiiya, beewale okubeera ba byekwaso.
Atabukidde abasabiriza bannabyabufuzi n’abagagga.
“Saagala muntu aleebeeta ssente mu balala kubanga kikumalako ekitiibwakyo, mu Buganda nga nze Katikkiro saagala asabiriza.
Omuntu atalina kitiibwa anaayimba atya ekitiibwa kya Buganda”.
Katikkiro bwannyonnyodde.








