
Bya Samuel Stuart Jjingo
Sseguku – Busiro
Kamalabyonna wa Buganda Oweek. Charles Peter Mayiga yebazizza Banna-Rotary olw’omulimu amakula gwe bakola okujuna abeetaaga okubeerwa.
Bino bibadde mu bubaka Katikkiro bw’attise Minisita w’Obuwangwa, Ennono, Embiri n’Ebyokwerinda Owek Dr. Anthony Wamala ku Nican Resort e Lweza bana Rotary okuva mu District ya 9214 we bakuŋŋaanidde.
Katikkiro ategezeezza nti ebibiina bya Rotary eby’enjawulo biriko abantu sekinoomu n’ebitundu ebiwera bye bayambyeko mu bintu bingi, omuli okubafunira amazzi amayonjo, okubazimbira ennyumba ez’omulembe, okubawa obujjanjabi ku ndwadde n’ebirala n’asaba Rotary okwongera okukwasizaako abetaavu.
Katikkiro agamba nti omulamwa gwa Rotary ogw’obuweereza obusukuluma ku muntu kinnoomu bagutambuza bulungi nga bewaayo okusitula embeera z’abantu be bamanyi n’abatabamanyi okugeza ng’abantu ababeera mu migotteko abasinga okukosebwa endwadde eziva ku buligo.

Ye Mw. Edmond Ssemugisha Safaari, Pulezidenti wa Rotary club y’e Sseguku agambye nti bakizuula nga wakyaliwo ebisoomooza abantu mu bitundu ebitali bimu era yeyamye nti baakwongera okubayamba okulaba nti buli muntu abeera mu bulamu obweyagaza.
Rotary Club ezeetabye mu nsisinkano eno kubaddeko ey’e Seguku, Muyenga, Maya, Mutundwe, Kansaga, Lubowa, Katende, Bwerenga, Namasuba n’endala.