Amawulire

Aba Kampuni Ya Square and States Global Limited Baagala Nkolagana n’Obwakabaka mu Kusaka Bannamikago

Aba kampuni ya Square and States Global Limited basisinkanye Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, okwogera ku bwebayinza okussaawo enkolagana n’Obwakabaka mu kusaka bannamikago, okutumbula eby’obusuubuzi, n’enkozesa y’ettaka ennungi.

Kakooza Ssenyondo, akulira kampuni eno, annyonnyodde nga Africa bwelina eby’obugagga eby’enkizo naddala obuwangwa, wabula bangi babisuddewo ne basembeza eby’abagwira ky’agambye nti kimu ku biviiriddeko obwavu obufumbekedde mu mawanga ga Africa.

LANGUAGE