Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo-Kyaddondo
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’alabikako eri Obuganda ku misinde gy’amazaalibwa ge egy’omulundi ogw’ekkumu n’esatu.

Olubiri luwuumye bwe lukubyeko abantu okuva ebule n’ebweya abeetabye mu misinde gy’omwaka guno. Bano baanirizza Kabaka mu ssanyu atuuse mu Lubiri ku ssaawa emu n’ekitundu ng’ali ne Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda, Omulangira Chrispin Jjunju, Omumbejja Victoria Nkinzi, Omulangira Richard Ssemakookiro, ne Omulangira David Kintu Wasajja.
Katikkiro Charles Peter Mayiga y’ayanirizza Beene, ng’ali wamu n’Omumyuka we Asooka Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo ng’ono ye Ssentebe w’Olukiiko oluteesiteesi olw’amazaalibwa ga Kabaka wamu n’Abaami ba Kabaka abalala. Oluvannyuma lw’okumwaniriza amwanjulidde abamu ku bavujjirizi b’emisinde gino abakulemberwa Airtel.
Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde mu Lubiri n’akoowoola Obuganda okugoberera ekiragiro kya Kabaka eky’okwekuuma obulwadde bwa mukenenya.
“Abasajja tubeere basaale okutaasa omwana ow’obuwala akawuka akaleeta mukenenya era buli musajja ali wano manyi nti okkirizza okuteeka ekiragiro kya Ssaabasajja mu nkola, nsaba abalina obulwadde okugondera ebiragiro by’abasawo, abatali balwadde mwekuume ate mwe abavubuka temwetaba mu bintu bino kubanga ebirungi biri mu maaso” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro era akubirizza abantu ba Buganda obutakkiriza mu tu yenna kubaggya ku Kabaka waabwe, akikaatiriza nti Kabaka y’entabiro y’ebyo byonna Buganda by’ekkiririzaamu. Ono yebazizza bonna abeetabye mu misinde olw’okwolesa omwoyo gwa Buganda ogutafa.
Omubaka wa Germany mu Uganda Matthias Schauer mu Lubiri w’asinzidde ne yebaza Obwakabaka olw’enteekateeka eno wamu n’omulamwa gwayo ogutunuulidde okulwanyisa mukenenya. Ono agamba nti yetabye mu misinde gy’amazaalibwa ga Kabaka emirundi kati etaano, era yenyumiriza nnyo mu nteekateeka eno.
Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek. yebazizza bannamikago bonna abawagidde enteekateeka y’emisinde n’abeebaza olw’okujjumbira enteekateeka eziganyula omuntu wa bulijjo, yebazizza n’abantu bonna abajjumbidde emisinde gy’omwaka guno n’abakuutira okwongera okusaasanya obubaka bw’okulwanyisa mukenenya.
Ssenkulu wa Airtel mu Africa Sunil Taldar ng’ono yetabye ku misinde gino omulundi gwe ogusoose, alaze essanyu olw’enteekateeka eno era yebazizza Maasomoogi n’Abaami be olw’okutandikawo emisinde gino.
Nakasaga Hanifa omu ku baddusi, avudde Makindye yebaziza Allah awadde Kabaka obulamu n’omutima oguyaayanira okuyamba abantu be babeere n’obulamu obulungi ate n’asoosowaza omwana omuwala, ayagaliza Beene obuwangaazi.
Hajjat Rahma Nalubega naye adduse kuva mu Lubiri, abeera Kyengera, yeyanzizza Ssaabasajja olw’okulafuubanira obulamu bwa bakyala olw’emiramwa egibatukirako obuterevu buli kiseera nga ono anokoddeyo endwadde ya Fisitula ate na kati mu kulwanyisa mukenenya essira ne liteekebwa ku kutaasa omwana omuwala.
Ssekajja Moses abeera Mulago, yebazizza Ssaabasajja olw’omulimu gw’akoze mu bavubuka naddala okulabula ku bisoomooza mu bulamu; endwadde nga mukenenya, ebbula ly’emirimu n’ebirala, ono aweze nti baakwongera okunnyikiza obubaka bwa Beene obw’okugoba mukenenya.