Ssanyu Jjereere: Obuganda busagambiza lwa mazaalibwa ga Kabaka ag’emyaka 71

Amawulire Apr 13, 2026
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Namungoona-Kyaddondo

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II leero 13 Kafumulampawu, 2026 awezzeza emyaka 71 ng’ayuuguuma, anti nga 13 omwezi gwe gumu 1955 ono yazaaliibwa Namasole Sarah Nalule mu ddwaaliro e Mulago.

Okuzaalibwa kw’Omulangira Mutebi kw’ajja n’ekitangaala eky’enkyukakyuka n’essuubi. Newankubadde Kitaawe Ssekabaka Muteesa II yali mu buwanganguse mu kiseera Omulangira mw’azaalibwa naye yali yakyatula dda nti ono alifuuka Kabaka wa Buganda era bwekiri.

Okujaguza amazaalibwa ga Kabaka okw’omulundi guno kukwatidwa ku eklesia ya St. Nicholas Orthodox Carthedral e Namugoona era kukulembeddwamu Ssaabalabirizi Jeronymos Muzeeyi, okubuulira kukulembeddwamu Bp. Silvester Kisitu ate nga Nnaabagereka Sylvia Nagginda y’abadde omugenyi omukulu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga ansizidde ku mukolo guno n’ayozaayoza Nnyininsi Kabaka okuweza emyaka 71 era n’ategeeza nti amazaalibwa gano gatambulidde ku miramwa 3 okuli obukulembeze, obumu n’ebyobulamu.

“Okujaguza kuno tutadde essira ku nnyingo ssatu okuli obukulembeze eby’obulamu n’obumu; nga obukulembeze gwe musingi gw’enkulaakulana mu buli mbeera, ffe mu Buganda obukulembeze bwaffe bwalambikibwa okuva mu lulyo lwa Kintu nga Omulangira eyalya eŋŋoma, ebyobulamu tubisoosowaza kubanga buli kimu kye tukola kisinziira ku mbeera y’obulamu bw’emibiri gyaffe kye twavudde tudduka eggulo ng’abasajja ffe basaale okutaasa omwana omuwala mukenenya nga 2030 tanatuuka naye tujjukire nti mukenenya ssi ye yekka atujjojjobya, waliwo endwadde endala. Ate ensonga y’obumu, bwe tutaba bumu omulabe kimwanguyira okutusaasanya nga eddiini, eby’obufuzi, amawanga ebyo bulijjo biba byawufu naye siraba nsonga lwaki bitutemateemamu kuba wano kumpi buli muntu alina ekika kale bwetuba obumu tujja kutuuka mangu gye tulaga. Katikkiro Mayiga bwanyonyodde enyingo essatu.

Katikkiro Mayiga ajjukiza abantu abeetabye mu kusaba kuno enteekateeka Obwakabaka eyatongozebwa gye buvuddeko eya Situla Omutindo nga kati kwe kutambuliza emirimu gyonna egikolebwa n’amazaalibwa agakuziddwa omulundi guno ku myaka 71 gabadde gakusitula mutindo mu nyingo ezamenyedwa waggulu.

Omusumba Silvester Kisitu Omulabirirzi w’e Jjinja y’abuulidde mu mmisa eno nga obubaka bwe abusimbulizza mu kitabo ekitukuvu mu lugero lwa bakabaka abasatu abalaga abantu ekkubo ly’okusinza Katonda nga ono alaze nti ne Kabaka Mutebi alaga abantu be ekkubo etuufu ng’akola emirimu egibayitimusa.

Bp. Kisitu alaze nti emyaka gya Kabaka gibalibwa n’ebikolwa by’alagawo ebingi omuli okwagala eri abantu, emirimu emingi egikoledwa, obumu n’ebirala kale ono akuutidde abantu okukozeza obulamu nabo katonda bw’abawadde okukubisa mu talanta zaabwe n’emirimu emirungi.Ku nsonga y’abantu abatwala obuwangwa nga obwa sitaani, Omulabirizi Kisitu avvumiridde nnyo endowooza eno era anyonyodde nti enzikiriza y’omuntu teteekedwa kubaggya ku nnono na buwangwa bwabwe kuba kirabwa n’omuto nti obuwangwa bwasooka eddini.

Ssaabalabirizi wa Eklesia y’aba Orthodox mu ggwanga Jeronymos Muzeeyi asiimye ebirungi Obwakabaka bye bukolera eddini y’aba Orthodox nga alaze nti n’ettaka kwe batudde lyawebwayo Bwakabaka kale nga n’emirimu gye bakola bagikola bagumu nti tewali ayinza kubaseeseetula.

Ssaabalabirizi Muzeeyi anyonyodde nti banyigirizibwa olw’obutali bwenkanya mu ngabana y’ebifo eby’obuweereza mu ggwanga ate nga ssemateeka w’eggwanga awa buli muntu omwaganya okuweereza eggwanga lye, naye mu bifo ebinene mu Gavumenti ne babulwayo ava mu Ekelesia. Ono alaze okwenyamira olw’ekitta bantu ekisusse mu ggwanga nga eky’okulabirako awadde kya baana b’e Ggaba abatibwa ku myaka emito ddala, asabye wabeewo ekikolebwa okukomya embeera eno.

Ku lwa gavumenti ya wakati Hon. J.C. Muyingo atuusizza obubaka bwa pulezidenti w’eggwangwa nga asiima emirimu emirungi egikolebwa Obwakabaka, era ayozaayozezza Ssaabasajja Kabaka okutuuka ku mazaalibwa ge ag’omwaka guno. Ono aliko n’ekirabo ky’atuusizza eri Katikkiro nga kya Kabaka ku mazaalibwa ge gano.

Omubaka Theodore Ssekikubo ne Hellen Nakimuli ku lw’ababaka ba paalamenti ate nga bano era baweereza mu Ekelesia basiimye nnyo Obwakabaka bwa Buganda okubakirizza okutegeka amazalibwa kyokka n’ebawanjagira gavumenti ya wakati okulowooza ku bayivu aba Orthodox nabo baweebwe ku bifo eby’omuggundu bakikirirwe. Bano baliko ne bye baloopye Embuga ebinyigiriza abantu mu mpeereza za Gavumenti ez’enjawulo.

Okusaba kuno kwetabiddwako Bannnalinnya, Abalangira n’Abambejja, bakatikkkiro abaawummula, Kabineeti ya Kabaka yonna, abaami b’Amasaza, ababaka ba paalamenti n’abantu ba Kabaka okuva mu masaza gonna.

LANGUAGE