Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo – Kyaddondo
Abantu ba Ssaabasajja Kabaka okuva e Buddu n’e Bugerere bakiise embuga okuwagira emirimu gy’Obwakabaka okuyita mu nkola ya luwalo lwaffe, bano beetisse lwa bukadde 8,140,000.

Bw’abadde abatikkula ku lwa Katikkiro, Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Oweek Hajji Ahmed Lwasa abeebazizza okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka, n’abajjukiza ku nteekateeka ya situla omutindo n’emiramwa egirimu omuli; eby’enjigiriza, obulimi, eby’obulamu, eby’obusuubuzi, okusitula embeera z’Amaka gaffe, bw’atyo n’asaba abaami ba Kabaka obutafuuka ba byekwaso naye bafube okulaba nga ennyingo zino ziteekebwa mu nkola.
“Okusitula Omutindo kitwaliramu okutereeza ebyo by’okola ku mulimu gwo nga tukyusa embeera okusobola okutambula obulungi kale ffe kennyini twekokemu omulimu tuve ku kigambo kye bayita byekwaso naddala nga tuli ku mirimu, olwo lwe tujja okusitula omutindo” Owek. Lwasa.
Minisita wa gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki akubirizza abantu ba Ssaabasajja okutaasa n’okutaakiriza eby’obugagga bya Buganda okuva ku bannakigwanyizi, bafube okuyiwawo omubiri nga enjogera bweri ensangi zino naddala eby’obugagga ebimanyikiddwa bulungi, bataase Embuga z’eggombolola ez’amasaza ebifo eby’obulambuzi n’ebirala.
Omwami w’Essaza Bugerere, Oweek Mugerere Samuel Ssemugooma alaze okunyolwa olwa bannakigwanyizi abattukizza enkola y’okukunga abantu balime ebikajjo mu kifo ky’emmwanyi ekintu ekireeseewo okukuumira abantu mu bwavu, okubuzaabuzibwa n’okubajja ku mulamwa gw’Obwakabaka.

Eggombolola ezikiise kulikoSsaabawaali Galiraaya -Bugerere, Musaale Kangulumira Bugerere, Mutuba I Kitimbwa Bugerere, ne Mutuba 23 Kyazanga Buddu.