Bya Sulaiman Ssebaggala
Ssemuto – Bulemeezi
Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu omugenzi Kizito Mukalazi gy’alese akoze naddala mu kisaawe ky’ebyenjigiriza naddala bye yatandikawo amasomero ga Hormisdallen.

Obubaka bw’Obwakabaka okuva mu woofiisi ya Katikkiro busomeddwa Owek. Anthony Wamala Minisita w’Obuwangwa, Embiri, Amasiro, Obulambuzi n’Ebyokwerinda ng’ono y’akiikiridde Obwakabaka mu kuziika e Kagembe, Ssemuto mu Bulemeezi.
“Tusaasidde nnyo Obuganda n’eggwanga lyonna olw’okufiirwa Mw. Mukalazi ono, abadde munnabyanjigiriza ow’amaanyi. Asomesezza abaana b’eggwanga bangi nnyo, ate n’atumbula ebyenjigiriza n’abituusa ku mutindo ogwegombesa, gwe tulabira mu masomero ge aga Hormisdallen” Katikkiro Mayiga.
Kamalabyonna Mayiga agamba nti amasomero g’omugenzi gassa nnyo essira ku magezi ag’omukibiina, ate n’amagezi ag’ebyemikono, mu kaweefube w’okuzimba omwana mu bwongo ne mu buyiiya.
“Twebaza nnyo Mw. Mukalazi olw’okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo. Yawaayo ekisaawe ky’essomero lye eri ttiimu y’e ssaza lye Kyaddondo, yakkiriza n’akyaza Ekisaakaate kya Maama Nnaabagereka, emirundi ebiri, mu 2024 ne 2026, ebyo byonna byoleka omwoyo gwa Buganda ogutafa era tujja kumusubwa nnyo” Owek. Mayiga.
Mu bubaka buno, Katikkiro yebazizza Katonda olw’obulamu bw’awadde Mukalazi ate n’ebyo by’amusobozesezza okukola. Asabye Katonda omwoyo gw’omugenzi agulamuze kisa.

Mw. Mukalazi Kizito omugenzi kati yatandika amasomero ga Hormisdallen mu Mukutulansanja wa 1986 nga 12 era essomero lyatandika n’abaana 9 n’abasomesa 3 era ettabi eryasooka liri ku Mawanda Road e Kamwokya. Wano we yasinziira n’atandika amatabi amalala e Gayaza, Kyebando ne Kiteezi.