Bya Gerald Mulindwa
Obwakabaka busaasidde omuweereza wa Kabaka Fiona Nattabi Kafeero olw’okufiirwa Nnyina RTD. SSP Jane Nakabiri Nancy Kabengwa. Omugenzi Nakabiri aziikiddwa ku kyalo Kito e Busiika.
Ku lw’obwakabaka bwa Buganda, Omwami w’Essaza Butambala, Katambala Hajji Sulaiman Magala, y’asomye obubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga.

Kamalabyonna yeebazizza Katonda olw’obulamu bw’omugenzi mw’akoledde eby’omugaso ebingi omuli okugunjula n’okukuza ebitone by’Abaana ebyasobozesa Nattabi okuweereza obulungi Ssaabasajja Kabaka.
“Ebitone ebyo birabikidde bulungi mu buweereza bwa Nattabi nga omumyuka w’omubaka wa Ssaabasajja Kabaka ow’essaza New England, Massachusetts, Rhode Island ,New Hampshire, connecticut ne Vermont.” Kamalabyonna ategeezezza nti Muky. Fiona Nattabi Kafeero, bweyali aweereza nga Ssentebe wa Ggwangamujje Boston, yali musaale nnyo mu kunnyikiza obuwangwa n’olulimi lwaffe ng’ayita mu kubiyigiriza abaana abato n’abavubuka mu nteekateeka gye yatuuma Summer Camp. Enteekateeka eno ekyakwajja era evuddemu ebibala bingi.
Mu ngeri yeemu, Obwakabaka bumanyi bulungi obuweereza bwa Muky. Nattabi mu Kkanisa ate ne mu keleziya mu kibuga Boston, bino byonna bisobose olw’omulimu omulungi ogwakolebwa Maama, era tujja kumusaalirwa nnyo.
Mulekwa, Fiona Nattabi Kafeero, ayogedde ku Nnyabwe nga omukyala abadde omukozi ennyo, nga ayagala obwakabaka bwe, era ebitone bino nabo babigabanyeko era bateekamu amaanyi okubaako bye bakola ate n’okuweereza Ssaabasajja Kabaka.
Oweekitiibwa Geoffrey Kironde omukiise mu lukiiko lwa Buganda, yebazizza Katonda olw’okuwa Nakabiri ekitone ky’okwagala abantu ate n’obuteegulumiza newankubadde y’alina ebitiibwa mu Police teyabikulembezanga.

Omugenzi Jane Nakabiri Nancy Kabengwa, afiiridde ku gy’obukulu 85.