Bya Gerald Mulindwa
Mmengo – Kyaddondo
Omuyimbi Patrick Musaasizi amanyiddwa nga “Chosen Blood” akyaddeko embuga n’ayanjulira Minisita w’Amawulire Okukunga abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke, enteekateeka z’okubunyisa enjiri y’okulwanyisa obulwadde bwa obwongo obuleetebwa okukozesa ebiragalalagala mu bavubuka naddala bannabitone, wezituuse.

Chosen Blood abadde wamu n’omuyambi we mu nsonga eno, era bategeezezza Minisita Kazibwe nti kaweefube ono bamutambuliza mu matendekero n’amasomero ag’enjawulo okulaba nga abayizi babeera bulindaala ku bintu ebiyinza okwonoona ebiseera by’abwe eby’omumaaso singa baba tebakwatiddwako nga bukyali.
Chosen Blood waviiriddeyo ku nsonga eno, nga omuwendo gw’Abavubuka abatabuka emitwe olw’ebiragalalagala gweyongedde, era okunoonyereza kulaga nti obumenyi bw’amateeka n’obuzzi bw’emisango bweyongedde lwa mbeera eno.
Olutalo lw’okulwanyisa ebintu ebivaako obulwadde bwa obwongo lwenyigiddwamu ebitongole eby’enjawulo nga ne gyebuvuddeko Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda yatongoza kaweefube ono mu nteekateeka ya Queen’s Ball eraga ensonga eziviirako abantu okutabuka emitwe.