Katikkiro awabudde ku Mobile Money

Amawulire Jun 11, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro akubirizza bannayuganda okwettanira enkola y’okutambuliza ensimbi ku mutimbagano kibayambe okutebuka bannakigwanyizi.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga, asinzidde mu mwoleso gwa CBS Pewosa mu Lubiri e Mmengo, abantu ab’amakolero amatonotono, ebitongole bya gavumenti, amatendekero ku buli mutendera, mwe booleseza bye bakola, n’ategeeza nti okutambuliza ssente mu mpale kisikiriza ababbi okukola obulabe era ensimbi enkalu zireeta amalala mu bavubuka olwo nebazisasaanya mu bintu ebitalina makulu.

Olw’okwewala embeera eyo, Katikkiro ayisizza ekiragiro eri abakulembera ebibiina bya Pewosa okutandikawo enkola ey’okusasulira ba memba ku mobile money oba bbanka enkola y’okusasula mu nsimbi enkalu edibizibwe. Katikkiro agamba nti enkola y’okusasulira ku mobile money, etambulira mu buwufu bw’okusitula omutindo kubanga okwetikka ebisawo bya ssente mu mpale byayitako dda.

Omwoleso wegutuukidde nga laadiyo CBS ejaguza okuweza emyaka 30 nga eweereza bannayuganda, mu kwogera kwe ku nsonga eno, Katikkiro musanyufu olwa CBS okuggusa emiramwa egikutte ku bulamu bw’Abantu, okuli; okutumbula ebitone, obusuubuzi, ewadde abakozi emirimu, ereeseewo enkulaakulana mu bantu, eggumizza abakyala era ebawadde essuubi n’obuvumu okwesitula nokutuukiriza ebiruubirirwa by’abwe.

Minisita w’Obulimi, Obulunzi, obuvubi n’obwegassi, Oweek Hajji Amisi Kakomo Mukasa, Asabye abantu okuteeka mu nkola ebyo bye balabye mu mwoleso era babiteekeko omutindo nga batambulira mu nkola ya situla omutindo obwakabaka gyebutembeeta omwaka guno. Owek. Kakomo yebazizza abavujjirizi n’Abantu abeetabye mu mwoleso guno ne bannamawulire abakoze obuteebalira okubunyisa enteekateeka eno mu bantu.

Omuk. David Balaaka, Ssentebe wa bboodi ya CBS FM, agambye nti omwoleso guno gusimbidde ddala mu kigendererwa ekyatandisaawo cbs okukunga abantu, okussaawo enkola eziyamba abantu okugobwa obwavu, bw’atyo ne yeyama ku lwa bboodi gy’akulembera be okuweereza obwakabaka awatali kutiiririra Ssaabasajja Kabaka.

Omwoleso gwa CBS PEWOSA guno gwa mulundi gwa 12, gwakumala ennaku 7 okuva ku bbalaza nga 8 Ssebaaseka lwe gwatandika, okutuuka ku Ssande 14 Ssebaaseka. Mu mwoleso guno amakampuni n’ebitongole eby’enjawulo byolesa ebintu n’obuweereza obw’enjawulo ate abantu balambula era basomebebwa ku bintu ebitali bimu naddala mu byobulimi, obulunzi n’ebirala.

LANGUAGE