Enteekateeka z’okujaguza Amatikkira omulundi ogwa 33 zanjuddwa

Amawulire Jul 17, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo – Kyaddondo

Obwakabaka bufulumiza enteekateeka y’emikolo eginaakulembera amatikkira ga Kabaka ag’omulundi ogwa 33.

Enteekateeka eno esomeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga ku Bulange, mu lukungaana lwa bannamawulire olwetabiddwamu Pastor Julius Rwotlonyo akulira Watoto Church mu Uganda.

Bw’abadde atongoza enteekateeka y’emikolo gino, Katikkiro akinogaanyizza nti tujaguza amatikkira ga Kabaka kubanga y’entabiro y’ebyo byetukkiriza, entabiro y’ebyobusika byaffe n’obuwangwa bwaffe, n’olwekyo amatikkira ge makulu nnyo kubanga ekyo kyetuli kisimbye mu Kabaka kubanga gwe mutwe gwaffe. Ku mulamwa gw’omwaka guno ogwa; Tubeere bavumu mu kukuuma obuwangwa bwaffe’.

Katikkiro Mayiga agamba obuvumu kintu kikulu mu byetukola era abakulembeze balina okuba abavumu kubanga abantu tebaagala mutitiizi, bagoberera oyo omuvumu, ne mu kulwanirira obuwangwa bwaffe tulina okuba abavumu, ekyo bwekinaalema abaana baffe n’abazzukulu tebajja kubusangawo kubanga ensi erimu ebintu bingi ebigwawo. Yebazizza aba Watoto okukkiriza okutegeka omukolo mu nzikiriza y’abwe kubanga kitwala ensimbi nnyingi, obudde, n’okwerekereza.

Pastor Julius Rwotlonyo, agamba baaniriza buli mukisa ogubaweebwa okwebaza Katonda n’olwekyo tewali kuwanaanya beetegefu okutegeka omukolo ogw’ebyafaayo era ogujjayo obukulu n’ekitiibwa kya Kabaka aky’amatikkira.

Ssentebe w’enteekateeka z’amatikkira, Oweek Joseph Kawuki agambye nti olukiiko lwakulembera emirimu egiwerako era batambulira wamu awatali kweganya, era enkwataganya y’enzikiriza ya Watoto n’obuwangwa bwaffe byattaanyizibwa bulungi era n’ebikoleddwa bizze bitegeezebwa obuganda.

Dr. Jeff Ssebuyira Mukasa, annyonnyodde nti okukyaza abantu ba Kabaka nsonga nkulu ddala, era nga Watoto bawadde obweyamo okwetegeka obulungi okwebaza omutonzi olw’emyaka 33 nga Ssaabasajja Kabaka alamula obuganda.

Enteekateeka ejja kutambula bweti;

LANGUAGE