Bannabyamizannyo bakubiriziddwa okwetaba mu kujaguza Amatikkira

Amawulire Jul 16, 2026
Share This

Bya Miiro Shafik

Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Owek. Robert Serwanga akunze bannabyamizannyo okwetaba obutereevu mu nteekateeka z’okujaguza emyaka egiweze 33 nga Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II atudde ku Nnamulondo.

“Emipiira gy’Amasaza gyonna egya wiikendi eno, tugenda kuzannya nga tujjukira Amatikkira ga Kabaka, era buli mupiira gujja kutandika n’akaseera ak’okujaguza emyaka 33 nga Kabaka Mutebi II atudde ku Nnamulondo, ate mu kuwummula ekitundu ekisooka, tujja kubeera n’ensiitaano y’okusika omuguwa, ng’abawagizi be bavaamu abakiikirira amasaza baabwe mu muzannyo guno, okulaba ani asinga” Owek. Serwanga.

Minisita era ategeezezza ssabbiiti eno, okuva nga 17 – 19 Kasambula, wajja kubaawo omuzannyo gwa Badminton ku CFK Badminton Academy Kisaasi ng’emu ku nteekateeka ez’okujaguza emyaka 33 nga Nnyinimu alamula Obuganda.Mw. Mugabi Simon, akulira omuzannyo gwa Badminton mu Uganda ategeezezza nti basuubira abazannyi abawerera ddala 800 abagenda mu muzannyo guno era ku bbo 450 baamaze dda okwewandiisa.

Okujaguza Amatikkira ga Kabaka omulundi ogwa 33, kutambuliziddwa ku mulamwa “Tubeere bavumu mu kukuuma obuwangwa bwaffe” era nga entikko y’ebijaguzo yakubeera ku kkanisa ya Watoto e Bweyogerere ku Lwokutaano nga 31/07/2026. #Amatikkira33

LANGUAGE