Bya Samuel Stuart Jjingo
Mmengo – Kyaddondo
Katikkiro akubirizza abatandikawo kkampuni empya okulemerako babeere bamalirivu nga bakazitandikawo okusobola okubuuka obulippo obutomera kkampuni empya.

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga bino abyogedde atongozza bboodi empya eza kkampuni z’Obwakabaka bbiri; K2 Telecom ne Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd ku mukolo ogubadde mu Bulange e Mmengo. Katikkiro yebazizza bboodi eziwumudde olw’okwolesa obuyiiya, obunyikivu, okukola n’okwagala mu mbeera nti baweerereza ku bboodi nga kkampuni zino zikyali nto ddala.
“Okwevaamu okutandika ekintu n’okwewayo kyamuwendo kubanga buli kintu mu kkampuni ento kiba kyakuyiiya buyiiya, n’olwekyo bwotaba mu marilivu ebintu bikulema; emisaala gy’abakozi, emisolo oluusi ne bakasitoma bakubula,” Katikkiro Mayiga.
Owoomumbuga asabye abantu bonna okulabira ku Ssaabasajja Kabaka engeri gye yakwatamu Obwakabaka nga akomyewo era alaze nti waliwo enjawulo mu kiseera kino.
“Bulijjo ngamba nti; Ssaabasajja Kabaka atuwa ekyokuyiga, mu Buganda tewaali kantu konna; embiri, abaweereza, wadde woofiisi naye Kabaka yali mumalirivu n’atandiika mpola mpola okukumaakuma Obuganda era Buganda eya 1993 ne 2026 zirina enjawulo,” Katikkiro Mayiga.
Katikkiro agamba nti bboodi zino zijidde mu kaseera nga Obwakabaka bwatongozza enkola ya Situla Omutindo era akuutidde abakozi okumanya bye bakola ku mutindo, okufuna ebirowoozo nga bya mutindo nga bijja mu nkola ey’omulembe gwa tekinologiya bibayambeko okuyitimuka mu muyaga oguliwo ogw’ebyenkulakulaana.
Ye Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro era Omuwanika wa Buganda Owek. PDG Robert Waggwa Nsibirwa nga yalambika ebitongole bino byonna yebaziza nnyo bammemba ba bboodi bano abawumudde olw’okuleka kkampuni zino nga ziyingiza ssente bulungi mu kitavvu ky’Obwakabaka. Ono abeebaziza nnyo olw’omwoyo gwa Buganda ogutaffa era abasabye okusigala nga bayima b’ebitongole bino byonna.

Omuk. William Ssekabembe, Ssentebe wa bboodi ya K2 awummudde, agamba nti mu buweereza bwabwe basse emikago egy’enjawulo nga “Kibuga Online Shopping” era bavuddewo nga amabanja gonna gasasuddwa, emisolo gisasuddwa awamu n’abakozi ekimuwa essuubi nti kkampuni eno egenda kugenda mu maaso. Ono yeebaziza endowooza z’abakugu ab’enjawulo bonna abatambudde nabo mu buweereza bwabwe okutuuka kati.
Omuk. Dr. Evelyn Nabakka abadde Ssentebe wa bboodi ya Weerinde Insurance Brokerage Services Ltd agamba nti bazimbye kkampuni eyimiridde okumala ebbanga mwe baafunira ne layisinsi gye bakuumye obwerinde, ekisikiriza kkampuni ez’enjawulo okubeyunira okugeza nga; Liberty Life Insurance, URA, Jubilee Insurance, Kabaka Foundation n’endala.
Ssentebe wa bboodi ya K2 kati omuggya ye: Omuk. Sam Ntulume ate owa Weerinde, ye Omuk. Omuk. Ronnie Mutebi.Bboodi ya K2 mu bujjuvu y’eno; Omuk. Sam Ntulume, Omuk. Michael Kawooya Mwebe, Omuk. David Balaaka, Omuk. John Kitenda, Omulangira Crispin Jjunju Kiweewa, Omuk. Robert Kasozi, Dr. Rose Nakassi, Muky. Joweria Nabakka ne Mw. Innocent Kawooya.

Weerinde; Omuk. Ronnie Mutebi Ssentebe, Omuk. Can. Alice Ddamulira, Omuk. Simon Ssekankya, Omuk. Harrison Kiggundu, Omuk. Adam Bbaale Kayemba, Omuk. Dr. Joyce Nalunga Birimumaaso, Omuk. Joseph Mary Kiggundu