Situla Omutindo mu Bulemeezi: Katikkiro Mayiga atongozza Ente ya Kabaka

Amawulire Jul 21, 2026
Share This

Bya Miiro Shafik

Bulemeezi

Obwakabaka bwa Buganda bulangiridde “Ente ya Kabaka” ng’akawaayiro akapya akagattiddwa mu nnyingo ya Situla Omutindo ey’Okutumbula Ebyobulimi Buganda nga mu kino Katikkiro Charles Peter Mayiga ategeezezza nti buli muntu mu Buganda alina emmwanyi, oba alina olusuku ateekwa okulunda ente ekitiibwa eya Kabaka mw’aggya ebijimusa ennimiro ebigenda mu nnimiro wamu n’amata aganyebwa awaka.

Katikkiro okulangirira kuno akukoledde Kalasa mu ggombolola Mutuba IV Makulubita mu Ssaza Bulemeezi bw’abadde mu nteekateeka ya Situla Omutindo mu Bulemeezi ng’eno agguddewo Eddwaliro Muteesa II Health Centre – Kalasa n’alambula n’omulimi w’emmwanyi Mw. Latima Kagimu Mukasa ow’e Kabunyata mu ggombolola Mut. IX Kamira.

“Leero nga 21 Kasambula, 2026 nga nsinziira wano e Kalasa mu Bulemeezi nangiridde nti mu nteekateeka eno ya Situla Omutindo, buli muntu alunda ente abeere n’ente eyitibwa Ente ya Kabaka, buli muntu alina olusuku, alima emmwanyi n’ebirala abeere n’ente ne bw’ebeera yakusiba ku muguwa naye nga evaamu amata n’evaamu n’obusa obujimusa n’okuliikiriza ettaka” Katikkiro Mayiga.

Katikkiro Mayiga awabudde abantu ba Buganda ku nsonga y’obulimi n’obulunzi bw’asabye buli asalawo okubiyingira okuwaayo obudde okusobola okufunamu.

“Obulimi n’Obulunzi birimu ssente kasita owaayo obudde, wabula mpulira nnyo abantu abagamba nti okulima kuzibu, bangi ku bano bayingira obulimi n’obulunzi nga tebetegese kuwaayo budde kulambula bye balima, tewali kintu ky’oyinza kufunamu okuggyako ng’okyemaliddemu, kyetuva tukubiriza abantu okulimira ku mutindo basobole okufuna mu maanyi gaabwe” Katikkiro Mayiga.

Mu ngeri y’emu Kamalabyonna Mayiga bw’abadde aggulwawo eddwaliro Muteesa II Health Centre akubirizza abantu ba Buganda okusoosowaza ennyo omutindo gw’ebyobulamu nga beekebeza endwadde, balya bulungi bakola dduyiro olwo bagatte ku kaweefube w’okuzza Buganda ku Ntikko.

“Nga tujaguza emyaka 33 nga Kabaka Mutebi II atudde ku Nnamulondo, tuzze wano okuggulawo eddwaliro lino mu Bulemeezi nga twagala omutindo gw’ebyobulamu mu Ssaza lino gusituke, abasawo mu ddwaliro lino tubasuubira okukwata obulungi abalwadde, kubanga omulwadde bw’afiibwako obulungi era awona mangu” Katikkiro Mayiga.

Minisita w’Ebyobulamu mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko ategeezeza nti Minisitule gy’akulembera yakwongera okwatagana wamu n’abakulembeze mu ggombolola eno okulaba nga eddwaliro lino lituusa obuweereza obw’omutindo ku bantu ba Kabaka, era yebazizza obujjumbize abantu bwe balaze okwettanira eddwaliro lino okuva lye lyatandika okuddamu okukola mu Kasambula wa 2024.

Ye Minisita w’Ebyobulimi Owek. Hajj Amisi Mukasa Kakomo asinzidde eno mu Bulemeezi n’asaba abantu ba Kabaka abakola emirimu egy’enjawulo okumanya nti newankubadde balina bye baasoma oba emirimu emirala gye bakola, basobola n’okuggattako obulimi n’obulunzi ne babikola nga omulimu era eky’okulabirako abawadde kya Mw. Kagimu Latimu omukugu mu bya Yinsuwa kyokka nga yasalawo n’ateeka n’amaanyi mu bulimi n’obulunzi.

Ye Omwami w’Essaza Bulemeezi, Kkangaawo Owek. Dr. Ronald Mulondo yebazizza nnyo Katikkiro olw’okulambula ku bantu ba Kabaka mu Ssaza Bulemeezi era ategeezeza nti eddwaliro lino liyamba nnyo Bannabulemeezi newankubadde waliwo ebikyabasomooza era ansizidde wano ne yeyama okukunga Bannakalasa abafunyemu ku ssente okugatta ensimbi okuteekawo ekizimbe omusulwa abasawo b’eddwaliro lino.

Ku ludda olw’ebyobulimi, Owek. Ronald Mulondo yeyanzizza Ssaabasajja ne Katikkiro olw’enteekateeka ya Mwanyi Terimba gy’agambye nti yafuuka essomo eritaliiko okusasulira era abantu ba Buganda bangi abaganyuddwa nga bayigira ku bannaabwe ekiyambye okwongera ku muwendo gw’abalimi b’emmwanyi wamu n’obungi bw’emmwanyi mu Buganda ne Uganda ey’awamu. Ono ayongedde okukubiriza abantu ba Buganda ate okunnyikira ne mu nteekateeka ya Situla Omutindo bongere okufuna mu bye bakola.

Prof. Dr. Jjoloba Moses akulira Buladde Medical Research Institute ekitongole ekyaweebwa omulimu gw’okulabirira agamu ku malwaliro g’Obwakabaka okuli n’erye Kalasa, ategezezza nti bukya bakwasibwa ddwaliro lino mu 2024, abantu abakunukkiriza mu mitwalo ebiri (20,000) be baakajjanjabwa, ate nga n’abakyala bangi ddala ababeeyunira mu nsonga z’okuzaala. Ono asabye bongere okuwagirwa okulaba nga eddwaliro likula, naddala abasawo okufunirwa we basula, okubeera n’amazzi agamala n’ensonga endala.

Ye omulimi alambuddwa Mw. Latima Kagimu Mukasa yebaziza nnyo Katikkiro olw’okutembeeta enteekateeka ya Mwanyi Terimba gy’agambye nti ezizza esuubi mu bantu ba Buganda, era bangi bagiganyuddwamu ddala.

Katikkiro Charles Peter Mayiga leero akedde mu Ssaza Bulemeezi mu ggombolola y’e Makulubita mu nteekateeka ya Situla Omutindo, eno agenda kutongoza eddwaliro Muteesa II Health Centre – Kalasa okwongera okutuusa obuweereza ku bantu ba Kabaka.Katikkiro awerekeddwako Baminisita; Owek. Choltilda Nakate Kikomeko, Owek. Hajj Amisi Kakomo, Owek. Israel Kazibwe Kitooke ne Owek. Noah Kiyimba, Omuk. Alfred Bakyusa ate nga eno baaniriziddwa Omwami w’Essaza Bulemeezi, Kkangaawo Owek. Dr. Ronald Mulondo Omwami ow’eggombolola Makulubita Omw. Lumbuye Goriath, Owek. Dr. Nakku Edith ne Prof. Jjoloba Moses.

LANGUAGE