Omwami w’Essaza Gomba yeyanzizza Ssaabasajja

Amawulire Sep 03, 2026
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Kabulasoke- Gomba

Omwami w’Essaza Gomba omuwummuze Jackson Celestino Musisi, yebazizza nnyo Ssaabasajja Kabaka okumulengera okumuweereza mu bwami obumuyambye okufuna emikwano egimukulaakulanyizza.

Okwebaza kuno Oweekitiibwa Musisi akuweeredde mu makaage e Kabulasoke, bw’abadde akyazizza Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweek Joseph Kawuki, enkya ya leero mu kaweefube gw’aliko ow’okulambula embuga z’amaggombolola ezisabgibwa mu Gomba okwongera okulondoola entambuza y’emirimu gy’Abaami ba Kabaka.

Oweekitiibwa Jackson Celestino Musisi, agambye nti mu myaka 10 gye yamala nga omwami w’Essaza Gomba, yayiga ebintu ebiwerako omuli; obukulembeze, yafuna emikwano, yatandika okulima emmwanyi era kati alina yiika ezisoba mu 30 era ensimbi azifuna, era agamba nti bino byonna teyandibifunye singa Beene teyamulengera awonno musiimu eri omutanda olw’okumuwa omukisa ogwo.

Minisita Joseph Kawuki, asinzidde wano n’ategeeza nti omwami wa Kabaka alina okufuba okulwanirira Nnamulondo nga akuuma eby’obugagga bya Kabaka naddala ettaka, akumaakuma abantu be, era abakubirizza okubeera abawulize eri Maasomoogi.

Minisita Kawuki, yebazizza Oweek Musisi Jackson Celestino olw’okuwa obuwagizi oyo eyamuddira mu bigere n’amuteekateeka era n’amuyambako mu kuweereza, ky’agambye nti kikolwa kirungi era kiraga obumu mu kuweereza Kabaka, bw’atyo n’ategeeza nti kikulu omukulembeze okukola emirimo era n’awummula n’awa abalala omwagaanya okuweereza.

Asabye abakulembeze obutalemera mu ntebe. Oweekitiibwa Jackson Celestino Musisi y’ali Kitunzi okuva mu 2013 okutuuka mu 2024 n’awummula.

LANGUAGE