Bya Gerald Mulindwa
Gomba
Minisita Kawuki akuutidde abakulembeze abalonde aba Gomba District okukola ebintu ebirimu ensa ne mu kiseera ky’okunoonya akalulu nga kituuse bakanoonye mu mirembe baleme kukuba bantu miggo okufuna obuwagizi bwabwe.

Okwogera bino, Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, okulambula kwa Kabaka n’ensonga za Buganda ebweru, Oweekitiibwa Joseph Kawuki, asinzidde ku kitebe kya District y’e Gomba gy’akyaddeko n’asisinkana abakulembeze abalonde n’abakola emirimo egy’ekikugu.
Bano Minisita Kawuki abasabye bakole ebintu ebiri ku mutindo beewale okukola neemalidde. Awadde eky’okulabirako eky’amakubo mwasanjala agaddaabirizibwa District mu buli mbalirira ya mwaka ate nga ne byebakoze tebiri ku mutindo, n’awabula nti bwe baba balina ssente ntono, bakoleko ekitono naye nga kiri ku mutindo.
Abasabye okunyweza enkolagana y’abwe n’Obwakabaka n’abategeeza nti Gomba y’emu ku District ezikolagana obulungi n’Obwakabaka ku mitendera gyonna n’abajjukiza nti abantu be bakulember ba Ssaabasajja Kabaka naye ekigendererwa kimu kya kubatuusa ku buwanguzi.
Oweek Kawuki abakulembeze bano abakubirizza okwewala obulyake n’okudiibuuda ensimbi, bakozese akatono ke balina okwesitula bagende mu maaso. Rra abakubirizza okwawula eby’obufuzi n’enkulaakulana.
Ssentebe wa District y’e Gomba, George Abigaba, asabye obwakabaka bukole ekisoboka okukulaakulanya olusozi lw’e Kisozi lutuukane n’omutindo olw’obukulu bwa lwo mu by’obuwangwa n’ennono.