Ababaka ba Paalamenti abakiikirira ebitundu bya Buganda bafunye okulambikibwa ku nsoonga ezikwata ku Buganda n’engeri gyebalina okuzikwatamu

Amawulire Sep 04, 2026
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Mengo – Kyaddondo

Ababaka ba Paalamenti abakiikirira ebitundu bya Buganda bakiise embuga ne bafuna okulambikibwa ku nsonga ezikwata ku Buganda n’engeri gye balina okuzikwatamu.

Bano bakulembeddwamu Ssentebe w’abwe era omubaka wa Buvuma Robert Migadde n’olukiiko olubakulembera lwe beerondera bbo bennyini.

Mu bubaka bwe gye bali, Katikkiro abasabye bategeere ensonga ssemasonga ettaano obwakabaka ze bwasoosowaza era bazeeyambise okulwanirira omugabo gwa Buganda mu Uganda ey’awamu era muno mutwaliramu okulima enguudo, amalwaliro amalungi, enteekateeka za gavumenti nga Parish Development Model, zisaana kugerekebwa okusinziira ku bungi bw’abantu okugeza, mu Buganda mulimu emiruka mingi naye engabanya ya PDM tematiza bulungi era kino kidda ne ku muwendo gw’ababaka abava mu Buganda batono nnyo bwogeraageranya ku bitundu ebirala eby’eggwanga.

Kamalabyonna abasabye balwanirire omugabo gwa Buganda, balwanirire ekitiibwa kya Kabaka, bannyonyole ebantu federo kye ki, ettaka, okunyweza obumu era ensonga zino bazirwanirire awatali kwekomomma.

Ku nteekateeka za Gavumenti ya wakati, Katikkiro Charles Peter Mayiga agyebazizza olw’enteekateeka eziriwo eziganyula abantu bonna omuli, okutumbula eby’obulamu okulwanyisa mukenenya, eby’obulimi nga tuyita mu mmwanyi terimba era endokwa nnyingi zisaana kugabibwa wano mu Buganda kubanga Buganda y’esinga okuvaamu emmwanyi ennyingi eziyimirizzaawo eggwanga, era asabye amazzi n’amasannyalaze byongere okubunyisibwa mu bitundu by’eggwanga nabyo bikulaakulane.

Katikkiro era yebazizza gavumenti olw’engeri gyekuttemu ensonga z’amafuta n’akakasa ababaka nti gasimwa mu ngeri ya kikugu, wabula awabudde nti ensimbi eziva mu mafuta zisooke kutunuulira nsonga ya butondebwansi, eby’obulamu, eby’obulimi, eby’enjigiriza n’enguudo naddala mu bitundu by’e Hoima, ate ne Bunyoro omugabo gwayo gugiweebwe mangu.

Ssentebe w’akabondo ka ababaka abava mu Buganda, era omubaka wa Buvuma, Robert Migadde, alaze nti ku lw’okukulaakulanya abantu ba Buganda, bbo nga ababaka, baasalawo okukolera awamu nga tebeeyawuddemu lwa langi za bya bufuzi kulw’obulungi bw’ensi yabwe Buganda.

Ono yeyamye nti ba kutambulira wamu n’Obwakabaka mu kukola emirimo gya Kabaka. Ababaka bano bawaddeyo obukadde 51, 500,000 ataano mu kamu n’ekitundu zigende ku kaweefube w’okugula eddwaliro ly’okumazzi abantu be Ssese ne Buvuma basobole okufuna obujjanjabi obulungi.

LANGUAGE