Abakulisitaayo mu bulabirizi bw’eNamirembe basabidde obwakabaka

Amawulire Oct 04, 2026
Share This

Bya Huzair Jjuuko Wasajja

Namirembe – Kyaddondo

Wakati nga obwakabaka yeteekerateekera okukuza olunaku lwa bulungibwansi, abakulisitaayo mu bulabirizi bw’eNamirembe basabidde obwakabaka olw’ebirunji bye butuuseeko okuviira ddala mu mwaka gwa 1962.

Okusaba kuno kukulembeddaamu Rev. Henry Lukyaamuzi Vicar wa Cathedral ya Namirembe. Yabazizza olwobukulembeze bw’ggwanga wamu n’obukulembeze bw’Obwakabaka wano nasabira Buganda n’abakulembeze bonna abennono mukama aboongere omukisa basobole okuwereza abaddu ba Katonda.

Bino webijidde nga obwakabaka buli mu kwetegekera okukuza olunaku lwa bulungibwansi ne gavumenti ez’ebitundu nga 8th omwezi guno ku mbuga y’eggombolola Ssaabawaali Ggombe mu Kyaddondo.

Katikkiro Charles Peter Mayiga mu bubaka bwatisse omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, akubirizza abantu okusitula omutindo mu mirimo gy’omu masaza.

Katikkiro okwogera bino asinzidde ku buwanguzi essaza ly’ekyaddondo lyebwatuukako nga lyelyawangula engule y’obuweereza obusinze mu Bwakabaka omwaka guno wamu n’omwaka oguwedde.

Katikkiro era ayongedde n’ategeeza nti okunyikiza obuweereza kyesigamye ku Kusitula Mutindo mu ngeri amasaza gye gassa mu nkola enteekateeka za gavumenti ya Kabaka.

LANGUAGE