Bya Samuel Stuart Jjingo
Namungoona – Kyaddondo
Abasodokisi e Namungoona basabidde obwakabaka olwa kaweefube gwebutadde mu nkola ya Bulungibwansi.

Okusaba kuno kukulembeddwamu Fr. Stellios Kasule, Omumyuka wa Diini owa Lutikko y’Abasodokisi ey’Omutukuvu Nicholas e Namungoona. Yebazizza nnyo Obwakabaka olw’obwesige eri Ekelesiya okutegeka emikolo gy’Obwakabaka ebbanga lino omuli amazaalibwa ga Kabaka ag’omwaka guno.

Mu bubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bwatisse Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Ebitone Oweek. Robert Sserwanga Ssaalongo, Kamalabyonna akubirizza Obuganda okwongera okwettanira enkola ya Bulungibwansi eyateekebwawo Gavumenti ya wakati eya buli mwezi, n’akunga abantu ba Kabaka okujja mu bungi ku mbuga y’eggombolola Ssaabwaali Gombe mu Kyaddondo okwetaba ku mikolo gino nga 8/10/2026.
Okusaba kuno kwetabiddwamu ow’Omuluka Lubya Dr. Joy Zalwango.
