Bya George William Mugwanya
Kapeke – Ssingo
Mu kaweefube w’okwongera okusitula omutindo mu buli kikolebwa mu bwakabaka, essaza Ssingo litongozza enteekateeka z’okukuuma eddembe ly’abaana nga essira lyakuteekebwa mu kulwanyisa kufumbiza mabujje ekigalemesa n’okulaba ku mbaawo eziwera nga bino bibadde mu ggombolola ya Ssaabawaali Kapeke mu Ssingo.

Ekitongole ki Center for Human Rights and Development kyesowoddeyo okukwatiza ku minisitule y’Enkulaakulana y’Abantu wamu n’essaza Ssingo nga baakusookera mu disitulikiti okuli Kiboga ne Kyankwanzi ezisenkenyezeddwa ekizibu kino.
Bwabadde atongoza enteekateeka eno minisita avunaanyizibwa ku Kikula ky’Abantu Oweek Mariam Nkalubo Mayanja ategeezezza nti kaweefube ono agenderara okulaba ng’abaana bamanya eddembe lyabwe ate n’okwogiwaza banna Ssingo bamanye emigaso egiri mu kusomesa abaana baabwe nga bwebununuzi obusookerwako bwe babawa okujjako eby’obugagga nga ettaka.

Oweek Mayanja asabye abazadde n’abatuuze b’e Ssingo bonna okufaayo ku by’obulamu by’abaana olwo kiyambeko n’okukendeeza ku ndwadde z’obukaba wamu n’omuwendo gw’abaana abawanduka mu massomero.
Omumyuka wa Mukwenda ow’okubiiri Oweek Nasseremba Regina yebazizza Ssaabasajja Kabaka okusoosowaza Ssingo okuyita mu kaweefube ono agenda okusosowaza amabujje, n’akubiriza banna Ssingo okubeera abasaale mu kujjumbira emisomo gyonna eginaategekebwa.
Oweek Naseremba mu ngeri y’emu akoowodde abakulu ku disitulikiti e Kiboga ne Kyankwanzi ssaako bannaddiini okutambulira awamu n’Obwakabaka.