Ensisinkano y’amawanga ga Afirika e Nairobi ku kusala entotto ku nkuuma y’obutondebw’ensi

Amawulire Oct 05, 2026
Share This

Bya Teddy Nabakooza Galiwaango

Nairobi – Kenya

Amawanga ga Africa gakungaanidde e Nairobi okusala entotto ku nkuuma y’obutondebwensi, eddembe ly’abantu, n’abantu okuba obulungi.

Mu lukungaana luno obwakabaka bwayitibwa nga eky’okulabirako, bugabanyizeeko abalala ku magezi engeri gye bukuttemu ensonga z’obutondebwensi n’eddembe ly’Abantu, era bwasindika omukwanaganya w’Obutondebwensi, Muky. Teddy Nabakooza Galiwango.

Nabakooza annyonnyodde lwaki obutondebwensi bukulu nnyo eri Obwakabaka bwa Buganda, agamba nti Ebika byaffe butonde bwa njawulo obusaana okuwa obukuumi obw’enjawulo. Ebintu nga ennyanja, entobazi, emigga, nabyo tubirinako akakwate ka maanyi n’olwekyo bwetuba tukuuma obutondebwensi tukuumira ddala ekyaffe ekiri mu Buwangwa n’ennono.

Ku kusitula embeera z’abantu, abalaze kaweefube Ssaabasajja Kabaka gwatadde mu kutumbula eby’obulamu omuli; ensiisira z’ebyobulamu ezikolebwa mu Masaza agatali gamu, azimbye amalwaliro, n’okutumbula eby’enfuna nga ayita mu kaweefube wa mmwanyi terimba.

Ku nsonga y’eddembe ly’Abantu, Teddy Nabakooza Galiwango, agamba eddembe mu maka nsonga nkulu kubanga amaka agatebenkedde ge gakulaakulanya eggwanga, mu kunyweza obumu, okukolera awamu, n’okwagalana. Mu kulaba kwe; Muky. Teddy Nabakooza Galiwango agamba nti abayizi e Kenya baasoma ku bwakabaka emabegako, era wabaddewo obwetaavu obw’okubabuulira ebiriwo mu kiseera kano.

LANGUAGE