Bya Pauline Nanyonjo
Mmengo – Kyaddondo
Minisita w’Enkulaakulana y’abantu ne woofiisi ya Nnabagereka Oweek Choltilda Nakate Kikomeko asisinkanye abakulu okuva mu kitongole kya UNAIDS ne People Living with HIV ku Bulange e Mmengo, abakulembeddwamu Dr Maggie Kigozi okuteesa ku nsonga y’okuzimba ekkeberezo lya Mukenenya ery’etongodde mu ggwanga.

Bano baagala Obwakabaka bubafunire ettaka yiika 2, era n’Abantu ba Buganda beenyigire mu kaweefube w’okusonda ensimbi ezinaakozesebwa mu kuzimba ekkeberezo.

Oweekitiibwa Choltilda Nakate Kikomeko, agamba nti ekintu kya mukenenya kikwata ku buli muntu, abamu balina abalwadde ate abalala be balwadde, n’olwekyo abantu bonna basaanidde okuteeka ettoffaali ku nteekateeka y’okuzimba ekkeberezo lino kisobozese aba Nafophanu ne UNAIDS okutuuka ku balwadde ba mukenenya abeetaaga okubudaabudibwa, okumira eddagala, olwo 2030 wanatuukira nga mukenenya tumulinnye ku nfeete.
