Bya Huzair Jjuuko Wasajja
Katabi – Busiro
Okulagajjalira obulamu bwo nga ovuga ekidduka ku kkubo kya bulabe nnyo, tulina okufaayo ku b’Enganda zaffe, n’olwekyo twewale okuvuga endiima, tusibe enkoba, tukomye okunywa omwenge ate ne tuvuga.

Obubaka buno Katikkiro abuweeredde Katabi, Entebbe, gy’agenze okukubagiza munywanyi we Paul Mayanja olw’okufiirwa mukyala we Maria Asumpta Mayanja mu kabenje, n’ayongera okusaba abavuzi b’e bidduka okugoberera amateeka g’okunguudo.

