Okutumbula Eby’obulimi n’obuluunzi, Katikkiro alambudde YPA

Amawulire Oct 06, 2026
Share This

Bya Arthur Kalumba

Nakitembe – Maddu Gomba

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga alambudde abavubuka abeegattira mu kibiina ki Youth Platform Africa (YPA) e Nakitembe, mu Gombolola ye Maddu mu district ye Gomba.Katikkiro faamu z’embuzi , ebyuma ebikozesebwa mukulima kko nebintu ebirala.

Nga ayogerako eri abe Gomba, Kamalabyonna, asoose kwenyamira olw’abavubuka abaagala ebirungi kyokka nga ate tebaagala kubikolerera.

Katikkiro awadde abavubuka amagezi okuba abamalirivu, obutakoowa singa baba batandiseewo emirimu, okulondoola, kko n’okutereza ebyo ebiba bisobye mu bizinensi zaabwe.Mukuuma ddamula yewuunyizza abavubuka abaagala obugagga , Kyokka nga ate obudde bwabwe bwona babumalira mu masinzizo kati ssente banazijjawa?

Ben Obed ssenkulu wa YPA yeebazizza Katikkiro olw’okubazaamu essuubi nga abavubuka, kino kibayambyeko okwezuula nokwongera omutindo ku byebakola.

Minisita w’ebyobulimi mubwakaba bwa Buganda Owek Hajji Hamis Kakomo yebazizza abantu olwokugoberera enteekateeka za Buganda ez’ebyobulimi n’obulunzi.Katikkiro yawerekeddwako minisita w’ebyamawulire n’okukunga, Omwami w’essaza Gomba Kitunzi, nabaami ba Kabaka abalala bangi.

LANGUAGE