Ebika bisabiddwa okufaayo okukuuma ettaka

Amawulire Oct 14, 2026
Share This

Bya Arthur Kalumba

Mmengo – Kyaddondo

Minisita w’Obuwangwa n’Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala asanyukidde enteekateeka y’Ekika ky’e Mmamba Gabunga, ey’okuwandiisa ettaka n’asaba Ebika ebirala okutwala eky’okulabirako kino.

Bino bibadde mu nsisinkano gy’abaddemu n’abakulembeze b’Ekika ky’e Mmamba Gabunga abakulembeddwamu Omutaka Gabunga Mubiru James Ziikwa V ku Bulange e Mengo. Bano Oweek. Wamala abeebazizza okuwandiisa ettaka ly’Ekika kyabwe bwatyo n’abasaba okuwandiisa n’ettaka lya amasiga, olunyiriri n’eddala eribakwatako.

Ono abakuutidde okussaawo enkola y’okusiima abantu ab’enjawulo mu kika kyabwe abalina kye bakoze okusukkuluma ku balala nti kino kya kusikiriza emijiji emito okwenyumiriza mu buweereza obwo.

Katikkiro w’Ekika ky’e Mmamba omuggya, munnamateeka Dennis Bugaya agamba nti okukyala kwa Minisita Anthony Wamala ku butaka bw’Ekika kyabwe, baakufunamu eky’okuyiga naddala okunyweza obukulembeze mu Kika ku buli mutendera.

Munnamateeka Denis Bugaya annyonnyodde Minisita nga bwe babakanye ne kaweefube w’okununula ettaka ly’e Kika lyonna eribadde lyawambibwa nga kati baateekako n’amakakkalabizo okusobola okulikuuma nga terisikiriza bannakigwanyizi.

LANGUAGE