Fayinolo z’empaka z’amasaza zeyongeddemu ebbugumu

Amawulire Oct 13, 2026
Share This

Bya Huzair Jjuuko Wasajja

Lubaga – Kyaddondo

Okwetegekera Fayinolo z’empaka z’amasaza, Minisita Sserwanga n’olukiiko oluteesiteesi balambudde e kisaawe ky’e Wankulukuku.

Omupiira ogw’akamalirizo gwa kubaawo nga 31 omwezi guno wakati w’Essaza Gomba ne Kyaggwe nga bubeefuka okufuna nnantameggwa w’omwaka guno 2026.

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone Owek Robert Serwanga Ssaalongo nga yemuteesiteesi omukulu ow’empaka zino, agumizza abantu ba Kabaka abagenda okujja e Wankulukuku nti enteekateeka nnungi ddala era n’asaba abawagizi okuva ku njuuyi zombi Gomba ne Kyaggwe, okukuuma eddembe ku lunaku olwo.

Minisita yebazizza abantu abajjumbidde okugula tikiti n’asaba abo bonna abatannazigula bazigule nga tezinaggwawo.

Ssentebe w’olukiiko oluteesiteesi olw’empaka zino, Sulaiman Ssejjengo asabye tiimu ezigenda okuzannya empaka zino ez’akamalirizo okufaayo okugoberera emitendera egyateekebwawo wamu n’okuteekateeka abazannyi baabwe basobole okuzannya omupiira ogunaasanyusa abantu ba beene.

LANGUAGE