Okujjukira Bishop Samuel Balagadde Ssekkadde; kati emyaka 2 bukya atuva ku maaso

Amawulire Oct 14, 2026
Share This

Bya Huzair Jjuuko Wasajja ne Arthur Kalumba

Namirembe – Kyaddondo

Kati giweze emyaka ebiri bukya eyali Omulabirizi w’e Namirembe Bishop, Samuel Balagadde Ssekadde, ava mu bulamu bw’Ensi eno.

Obulabirizi bw’e Namirembe nga buli wamu n’abenju y’omugenzi, butegese okusaba okwenjawulo okujjukira ebirungi omugenzi byeyakolera ekkanisa ya Uganda. Okusaba kuno kukulembeddwamu Omulabirizi w’e Namirembe, Bishop Moses Banja ku lutikko y’Omutukuvu Paulo e Namirembe.

Mu bubaka bwe obw’okubuulira, Omulabirizi Banja yebazizza Katonda olw’olugendo olulungi olw’obulamu bwa Bishop Ssekadde olwajjula ebibala by’okubunyisa enjiri y’obulokozi mu bantu ba bulijjo amasomero, abakadde na buli kikula kya muntu, ekintu ekijjayo obujulizi nti ddala yatambula olugendo olulungi.

Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule, y’atuusizza obubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Kamalabyonna ajjukizza abantu ba Katonda abeetabye mu kusaba kuno, omulimu omunene Omulabirizi Samuel Balagadde Ssekadde gweyakola ogw’okuyambako Ssaabalabirizi Nkoyoyo okugatta Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda mu bufumbo obutukuvu.

Kamalabyonna era yebazizza Omugenzi Bishop Balagadde Ssekadde, olw’okulokola abantu nga ayita mu kubaliisa enjiri ekyuusa emmeeme z’abantu nebongera okutya Katonda.

Maama Allen Ssekadde, yebazizza nnyo Olulyo Olulangira ne gavumenti ya Kabaka olw’okumulambulanga entakera mu kiseera kino kyayitamu eky’obuyinike, ate n’okwagala Bishop Ssekadde bwe yali akyali mulamu.

Omulabirizi Samuel Balagadde Ssekkadde, yava mu bulamu bw’Ensi eno nga 15 Mukulukusabitungotungo 2024. Bishop Ssekadde tunaakujjukiranga.

LANGUAGE