Nnaabagereka Akunze Abe Australia Okunyweza Olulimi
Olukuŋŋaana lw’ebyobusuubuzi n’obuwangwa olwatuumiddwa “Business and Cultural Conversation Australia” lukomekkerezeddwa ku City Hall mu kibuga Melbourne, Australia.
Ekigendererwa ky’olukungaana kya kujjukira obuwangwa, okunyweza enkolagana mu by’obusuubuzi n’okunoonya emikisa egy’okukolagana n’okutumbula enkulaakulana y’abantu wamu n’okujaguza emyaka 64 egya Uganda okuva lwe yafuna obwetwaze.
Omugenyi ow’enjawulo ku mukolo guno yabadde Omumbejja Sarah Katrina Ssangalyambogo eyakiikiridde maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda. Abakungu abalala abakiikiridde Obwakabaka bwa Buganda n’abo baagwetabyemu ekyalaze obukulu bw’okunyweza enkolagana ez’enkulaakulana wakati w’abazzukulu ba Buganda abali mu nsi ez’ebweru n’Obwakabaka.
Nnaabagereka yeebazizza abali mu Autralia olw’okukuuma olulimi n’okukuza abaana nga bassa ekitiibwa mu buwangwa bwabwe gyebasibuka yadde nga bali bunaayira.
“ Olulimi kyankizo nnyo ku ki kyetuli. Olulimi oluganda lubaamu obubaka obulungamya abantu ku neeyisa mu maka ne mu bulamu obwabulijjo. Singa tudibya ennimi zaffe enzaaliranwa, tuba mu kabaate ka kusanyaawo omusingi okwesigamye ennono, wamu n’enkolagana yaffe nga abantu”.
Omuk. Kaggwa Eddie Ndagala, Akulira Ekitongole kya Kabaka Foundation, yakozeseza omukolo guno okulangirira okutandikibwawo kw’ettabi lya Kabaka Foundation mu Australia.

Mu kwogera kwe, Omuk. Kaggwa Ndagala yanyonyodde omulimu gw’ekitongole ogw’okulongoosa embeera z’abantu nga bayita mu bintu ebikulu omuli eby’obulamu, ebyenjigiriza n’ebyobulimi era ekitongole kino kigenderera okugaziya emirimu gyakyo.
Olukuŋŋaana luno lwawadde omukisa abantu okumanyagana, okuwanyisiganya ebirowoozo ku buwangwa, okukolagana mu by’obusuubuzi nebirala, era lwayongedde okulaga nti obuwangwa kikulu nnyo mu kugatta abantu n’okuzimba enkolagana ez’olubeerera.
Obwakabaka busabye abazadde okujja ekyeejo mu nkuza y’abaana kiyambeko okutaasa ebiseera by’eggwanga eby’omumaasoOct 17, 2026
Bwosiimba omuti, obeera okuuma obutondeOct 17, 2026
Obwakabaka bubangudde abakulembeze b’enzikiriza yakilokole mu byobukulembeze n’embeera eza bulijjoOct 16, 2026



