Amawulire

Ensimbi obukadde 133,371,500 ze zireeteddwa abantu ba Kabaka mu nkola eyaluwalo lwaffe

Obukadde 133,370,1500 bwe buleeteddwa mu nkola ya Luwalo Lwaffe abantu ba Kabaka okuva mu Masaza n’ebitongole eby’enjawulo.

Oluwalo ye nkola abantu ba Buganda mwebayita okuwagira emirimo gy’Obwakabaka egitali gimu. Enkola eno etembeetebwa Abaami ba maggombolola, abatuuka ku buli muntu yonna gyali nebamwagazisa okukiika embuga mu kuwayo ensimbi nga yefumiitiriza ku birungi ebivaamu omuli; okutumbula eby’obulamu, eby’enjigiriza, eby’obulimi, n’embeera z’abantu ba bulijjo.

Minisita w’Amawulire Okukunga era Omwogezi w’Obwakabaka, Oweek Israel Kazibwe Kitooke bw’abadde abatikkula oluwalo luno, akoonye ku nsonga eziwerako z’asabye abantu ba Buganda bazeefumiitirizeeko era baziteeke mu nkola.

Ku nsonga y’ebyobulimiMinisita Kazibwe agamba nti okukendeera kw’emmere abantu gye balya, kivudde ku kukozesa bijimusa eby’obulabye ssaako n’enkozesa y’ettaka etali ntuufu, n’awabula nti kikulu okusitula omutindo ne balunda Ente ya Kabaka ne bafuna ebijjmusa ebitali bya bulabe.

Ku nsonga eno, Minisita Kazibwe kw’asinzidde n’avumirira abavubuka abatawa budde birime by’abwe ate nga babiteekamu ssente ez’okubirima.

“Abavubuka batandiseewo ennimiro naye basanze obuzibu nti tebawa nnimiro budde, badda mu kusaaliisa” Oweek Kazibwe bw’ategeezezza.

Bano abasabye baweeyo obudde ku mulimu gwonna gwebakola baleme kufuuka balimi ba WhatsApp. Ku nsonga y’ebyobulamu; Minisita Kazibwe Kitooke asabye abantu bafeeyo ku bulamu bwabwe nga balya bulungi, ssi kulya kufiirawo, balye ekisaanidde, era bekuume mukenenya kubanga yeyongedde nnyo lwa bantu buteefiirayo ku nneeyisa yabwe.

Obubaka buno asabye abazadde baatulire abaana baabwe ku ngeri siriimu ggakwatamu omuntu nabo babeere balabufu.

Ku bwegassi; Owekitiibwa ayagala abantu ba Buganda banyiikire okukola obusuubuzi era basasule emisolo. Abakola emirimo emirala bakuume obuyonjo mu bifo mwe bakolera n’endabika y’abwe. Abavubuka bakozese obuyiiya ku kye balina okusigamu ensimbi baganyulwe mu busuubuzi.

Ku by’enjigiriza. Awadde abazadde amagezi obuteereega mu masomero ga bbeeyi ennene, ekisinga obukulu kwe kusomesa omwana. Era asabye abazadde okulabirira amaka gaabwe nga galina emmere emala era erimu ekiriisa.

Ku nsonga y’Amaka Minisita Kazibwe Kitooke, asabye abakyala okuwa abaami baabwe ekitiibwa, ate n’abaami babeere beerufu okwewala obutabanguko mu maka.

Hajji Bashir Ziraba Lutaakome, omumyuka wa Mugerere, y’atudde mu ntebe ya Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, akubirizza abantu ba Kabaka okunyiikira okuwayo oluwalo kubanga lukola emirimu egitali gimu okugeza; ensiisira z’ebyobulamu, okuzimba amasomero, n’okutumbula kaweefube wa mmwanyi terimba.Agamba oluwalo luyigiriza abantu okukola n’okuba obumu n’olwekyo okuwayo kyolina obeera owagidde enkulaakulana ey’awamu mu bantu ba Buganda.

Amaggombolola gakiise bwegati mu luwalo oluleeteddwa olwa leero.

1.Butambala; Ssaabagabo Kibibi 5,500,000, Musaale Budde2,000,000

2.Bugerere;Mutuba 2 Nazigo, 8,000,000, Ssaabaddu Bbaale 140,000

3.Ssingo; Mutuba 4 Ntwetwe 9,210,000, Mutuba 5 Kiganda 3, 350,000

4.Buddu; Ssaabagabo Kyannamukaaka 9, 350, 000, Buddu CBS Pewosa Sacco 50,000,000,

5.Kyaggwe; Mutuba 3 Kyampisi 13,000,000, Mutuba 9 Goma 15,000,000

6.Bulemeezi; Mutuba 6 Zirobwe 5,400,000, Mutuba 7 Bamunaanika 7,880,000, Mutuba 9 Kamira 4, 011500

7.Buweekula;St Peter’s Technical institute Mubende 530,000

LANGUAGE