Amawulire

Ebivvulu Tubyagala Naye Olulimi Olukozesebwa Lutugobayo

Mukozese olulimi olutawebuula bawagizi bwammwe, kifuule omulimu gwammwe ogwegombesa.

Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu mu bwakabaka, Oweek Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, awadde bannabitone amagezi okwewala okukozesa ebigambo ebityoboola ekitiibwa ky’omuwagizi bwe baba baagala okutumbula ebitone byabwe.

“Bwe muba ku siteegi, musabike ebigambo byemwogera, okuwemula ssi kulungi, mu bivvulu mubeeramu abaana abato abateetaaga kuwulira bigambo byesisiwaza, ate n’abantu abakulu nabo tebeetaaga kuwulira bigambo biwemula, ekireeta omuntu mu kivvulu kuba kufuna ssanyu ssi kutyoboolwa”.Entanda eno Oweek Prof. Twaha Kaawaase Kigongo, agisibiridde bannabitone Patrick Salvador ne Dr. Hillary Okello, bannakatemba, abakiise embuga okwanjulira Katikkiro ekivvulu kyebatege “Two Kings One Mic” ekiri ku Serena enkya nga 23 Mukulukusabitungotungo.

Abakubirizza okukuuma obuwangwa bwaffe nga bakozesa ebitone byabwe, era okutwala ekitone nga omulimu ogw’obukugu n’okukuuma empisa.

Patrick Salvador yebazizza obwakabaka bwa Buganda okulemerako okulaba nga bukuuma ennono n’obuwangwa bwa Baganda kubanga obukulembeze bw’ennono obulala bugenze busaanawo lwa kukopperera bintu bya bazungu.

Minisita w’Abavubuka Emizannyo n’Ebitone, atenderezza Salvador ne munne Dr. Hillary Okello, okuba abakozi era abayiiya ne bongereza ku bye baasoma mu ssomero ne bagattako katemba mwe bayita okusanyusa bannayuganda, ate n’okujjayo obukulu bw’okukolera awamu mu kisaawe kya katemba.

LANGUAGE