
Bya Pauline Nanyonjo
Kakeeka – Mmengo
Minisita w’ Amawulire n’Okukunga Abantu mu Bwakabaka, Owek. Israel Kazibwe Kitooke asabye abasomesa bulijjo okufaayo ku mirimu gyabwe.
Okusaba kuno akukoze atongozza abasomesa abagenda okusomesa mu masomero g’ Obwakabaka aga Nnasale ku mukolo oguyindidde ku ttabi lya Muteesa Royal University e Mmengo ku Mmande.
Abasomesa era abasabye okubeera eky’ okulabirako eri abayizi wamu n’abantu abalala era bakimanye nti bagenda kubeera kifaananyi kya Bwakabaka.
Owek. Kitooke abakuutidde okulaga abayizi omukwano n’okwagala era babaagale kuba beebatekeddwa okubawa ekkubo mwebayina okuyita okusinga n’ abazadde kuba be babeera nabo ebiseera ebingi.

Minisita w’ Ebyenjigiriza n’ Embeera z’ Abantu mu Bwakabaka, Owek. Chotildah Nakate Kikomeko asinzidde wano naakakasa nti Obwakabaka buli mu lutalo okulaba nti Abantu baabwo bonna babeera bayivu olwo olugendo olw’ okuzza Buganda ku ntikko lusobole okwanguwa.
Owek. Kikomeko asabye abasomesa bano okukola namaanyi gabwe gonna baweese Nnyinimu ekitiibwa.
Yeebazizza Obwakabaka okusingira ddala Eggwanika lya Buganda olw’okuvugirira enteekateeka eno kuba bafunye ebikozesebwa nga Yunifoomu era abaana 30 abasooka bakuzifuna ku bwerere.
Akuliddemu okubangula abasomesa bano, Dr. Josephine Lubwama okuva mu kibiina kya Develop Brains Uganda n yeebaziza abasomesa bonna abkkiriza okugatta ettofaali ku mwana wa Buganda.
Dr.Lubwama ategeezezza nti babasomeseza engeri y’okugezesamu abaana so si okujja bibuuzo wabweru w’ essomero wamu n’ebirala bingi okusobola okufulumya abayizi ab’omutindo.
Abamu ku batendekeddwa okuli; Nakayiza Florence okuva mu Ssaza lya Busujju beebazizza Nnyinimu olw’ enkulaakulana gyatadde ku baana b’eggwanga.

Ono asabye basomesa banne bwebayigiriziddwa okuteeka byebasomye mu nkola nga enkwata y’abaana abato,enneeyisa y’abaana wamu nebizibu byebayitamu nga basomesa.
Kitegeerekese nti amasomero gano gakubbulwa mu Baami b’ Amasaza bonna e 18, nga Ssebwana Nursery and Primary School, Kaggo Nusery and Primary School era buli ssomero lyakuweebwa abasomesa basatu mu ntandikwa. Omubala (Motto) gugenda kuvuga nti ‘Ekkalaamu Ngabo.’