Abantu batya ebya Yinsuwa lwa kulwawo kubaliyirira – Katikkiro Mayiga

Amawulire Apr 02, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Bulange – Mmengo

Kamalabyonna Charles Peter Mayiga agamba nti ekimu kubitiisa bannayuganda enkola za Yinsuwa lwakuba nti ebitongole ebivunaanyizibwa bilwawo okubaliyirira.

Obubaka buno, Owek. Mayiga abuwadde  asisinkanye abakulira kampuni za Yinsuwa mu ggwanga abazze embuga okwetaba mu kaweefube w’okulwanyisa mukenenya nga bagula emijoozi gy’emisinde gy’amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’e 70. 

“Yinsuwa yetaagibwa okusobola okulaba nti ebibamba ebigwira omuntu yebeera engabo ye, naye bangi batya okubyetabamu lwa kampuni za Yinsuwa okulwawo okubasasula olw’ebintu byabwe ebiba byonoonese, era kino kiremesezza kampuni za yinsuwa nnyingi okufuna abaguzi,” Katikkiro Mayiga bw’ ategeezezza.

Mukuumaddamula agamba nti emirimu gya bannayinsuwa mikulu naye mu Nsi ezikyakula abantu tebabimanyi nnyo era bangi basinga kulinda bi bamba kubagwira olwo nebalyoka babijjukira, wabula abalabudde obutalinda bi bamba naye beetegeke bawone okufiirizibwa. 

Akoze okulabula eri abaddukanya kampuni za yinsuwa nti emu ku nsonga ebalemesezza okufuna abaguzi kwe kulwawo okubasasula, basaana bateekewo enkola eyanguyiriza mu kunoonyereza ku ekyo ekyetaaga okuliyirira olwo enjuuyi zombi zikkaanye era n’oyo owokusasulwa aweebwe ensimbi ze. 

Kulwa Uganda Insurer’s Association Ruth Nakimuli, ategeezezza nga bwe balina enteekateeka ey’okukwatagana n’obwakabaka okuyitimusa embeera z’Abantu naddala abalima e mmwanyi basobole okutumbula omutindo gw’ekirime kino. 

Omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri Owek Robert Waggwa Nsibirwa ategeezezza nti, obumanyi n’ensasaanya ya yinsuwa ntono ddala mu Nsi ezikula nga Uganda kyokka nga ya mugaso nnyo ekirekawo eddibu mu mirimu n’empeereza eyetaagibwa.

Owek. Nsibirwa asabye bannayinsuwa bano okuziba emiwatwa egiriwo mu mirimu egisinga okukolebwa mu Buganda okugeza nga okulima n’okulunda nga bassaawo yinsuwa ezijaamu era  bwe baba baakukola kino basaanye obuteerabira kukolagana na kampuni ya Werinde yinsuwa e y’Obwakabaka.

Bano bawagidde emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’e myaka 70 n’obukadde butaano.

Ensisinkano yetabiddwamu Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda era munnayinsuwa kayingo, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, Owek. Noah Kiyimba, Ssenkulu wa Weerinde insurance Ltd Omuk.  Jennifer Mirembe Ssensuwa, ne Ssenkulu wa Majestic Brands Omuk Remmie Kisakye.

LANGUAGE