
Bya Shafik Miiro
Lubiri – Mmengo
Abavubuka mu Buganda abegattira mu bibiina ebyenjawulo bawaddeyo ebirabo eri Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II okumwebaza olw’ obukulembeze obulungi n’okumuyozaayoza olw’okutuuka ku kkula lino.
Bw’abadde abatikkula ebirabo bino ebigenda okufuuka Amakula mu Lubiri e Mmengo ku Lwokutaano, Katikkiro Charles Peter Mayiga bano abajjukiza obukulu bwa Kabaka Mutebi II okukwata omulembe gwe n’aguwa abavubuka.
“Engeri yokka Abavubuka gyebasobola okumwebazaamu olw’okubawa omulembe gwe kwe kutuukirizza obuvunanyizibwa bwabwe, ku buli mutendera, okutegeera ensonga ssemasonga ettaano, okubanguka mu mirimu n’okugikola n’obukugu, okwekuuma mukenenya n’okuyingira obufumbo mu kiseera ekituufu” Katikkiro Mayiga bw’ategeezezza.
Owek. Mayiga agamba nti abavubuka be batambulizibwako enkulaakulana y’Ensi era y’ensonga lwaki Obwakabaka bubasoowaza nnyo nga nemu lusirika lw’abakylembeze mu Bwakabaka olw’akakomekkweezebwa bano be baateereddwako essira.
Abasabye okufaayo ku bulamu bwabwe ate n’okubeera n’obuvunanyizibwa mu bye bakola. Mu mbeera y’emu, yeebazizza enteekateeka y’abavubuka okuleeta amakula era asazeewo ebeerengawo buli mwaka.

Minisita w’Abavubuka mu Buganda, Owek. Robert Serwanga naye yeebazizza abavubuka olw’okujjumbira enteekateeka eno ate nga ekoleddwa mulundi gwayo gusoose.
Owek. Sserwanga akalaatidde abavubuka okufaayo ennyo ku kukola, batandikewo emirimu kibayambe okuyingiza ensimbi beekulaakulanye era babeere n’ensimbi mu nsawo. Bano abakuutidde n’okwongera okwenyigira mu nteekateeka z’Obwakabaka ng’akinoganya nti ebiseera bya Buganda ebyomumaaso byesigamye ku bavubuka.
Ssentebe w’Abavubuka mu Buganda, Omuk. Baker Ssejjengo yeebazizza nnyo Gavumenti ya Beene olw’okusoosoowanga abavubuka mu nteekateeka ez’enjawulo.

Omuk. Ssejjengo asuubizza kulw’ abavubuka nti tebajja kumutiirira mu mbeera zonna bajja kulwanirira ekitiibwa kya Nnamulondo nga n’enteekateeka eno ey’amakula y’emu ku nsonga ezikakasa kino.
Ono naye yeebaziza abavubuka bakulembera olw’ombumalirivu mu kuweereza Kabaka.
Abavubuka bano baleese ebirabo eby’enjawulo omuli ente, embuzi, emmere n’ebintu ebikalu ebirala bingi.