
Bya Consolata Taaka
Nakaseke – Bulemeezi
Ekitongole ky’Abakyala kitegese omukolo amakula okujaguza olunaku lw’Abakyala mu ssaza lino. Guno gwe mulundi ogusookedde ddala abakyala mu ssaza lino okujaguza olunaku lwabwe wansi w’enteekateeka y’Obwakabaka bwa Buganda.
Omukolo guno guyindidde ku Mbuga ya Musaale Wakyato mu disitulikiti ye Nakaseke era Owek. Mariam Nkalubo Mayanja Minisita wa Bulungibwansi, Obutondebwensi, Amazzi n’Ekikula ky’Abantu mu Bwakabaka bwa Buganda y’abadde Omugenyi omukulu, yegatiddwako ne Minisita w’akanyigo k’e Luweero, Hon. Alice Kaboyo abadde omugenyi ow’enjawulo.
Minisita Mariam Mayanja asiimye enteekateeka ekoleddwa mu bikujjuko bino, obumu mu kukunga abakyala abajjumbidde omukolo guno. Asinzidde wano n’alabula Abalyannaka okwewala okulimbibwalimbwa bannabyabufuzi mu kaseera kano abali mu keetalo k’okuwenja akalulu, babeegendereze mu kulonda, balonde oyo anaatuusa ensonga zaabwe era zikolebweko ate ng’ategeera n’Ensonga za Buganda.
Owek. Nkalubo akalaatidde abazadde okufaayo ennyo ku baana baabwe naddala abawala babatwale mu masomero era babalondoole ne mu kukula kwabwe, bafube okubawa ebyetaago baleme kujula kutuuka kugwa mu basajja bakaggwensonyi ababatikka Embuto nga bakyali bato. Wano asabye n’abaana abalenzi bafiibweko bawangule bulungi okusobola okufuuka abasajja ab’obuvunanyizibwa.

Omwami w’Essaza lino Kangaawo, Owek. Ronald Mulondo mu kwogera kwe alaze obwenyamivu olw’omuze gw’okufumbiza abaana abato ogulemedde mu bitundu by’e Nakaseke, Wakyato wamu ne Ngoma n’ategeeza nti eno y’emu ku nsonga lwaki kyasalibwawo okuteeka omukolo guno erudda eno basobole okumanyisa abantu ku kabi akali mu muze guno. Akubirizza abazadde okufaayo ennyo ku baana baabwe ate n’abaana naddala abawala okwekuuma baleme kutwalibwa lwa kwegomba buntuntu obubaviiramu okufuna embuto nga tebanneetuuka.
Hon. Alice Kaboyo atenderezza Obwakabaka bwa Buganda engeri gye bukutemu ensonga z’abakyala okubasitula mu mbeera ez’obulamu bwabwe n’okubawa okwekiririzaamu ne babaako ne bye basobola okwekolera.
Ow’ekitongole ky’Abakyala, Nassanga asiimye Abalemeezi (abaami n’abakyaala) olw’okujja mu bungi ku mukolo guno era yebaziza abantu bonna abaliko kye bakoze omukolo guno okutambula obulungi.
Olunaku luno lukuziddwa wansi w’Omulamwa ‘Tuwagire emirimu gy’Abakyala ku ly’Enkulaakulana eya namaddala’ era ku mukolo guno Abakyala boolesezza emirimu egy’enjawulo gye bakola, gubaddeko emisomo n’emizannyo egy’enjawulo era abawanguzi bavuddewo n’ebirabo okuli zi gomesi ensimbi enkalu n’ebirala.