Katikkiro Mayiga asisinkanye Minisita wa Eswatini ow’ebyenfuna, baweze okunyweza enkolagana

Bya Gerald Mulindwa

Mbabane – Eswatini

Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye Minisita wa Eswatini oweby’enfuna nokuteekerateekera eggwanga, Hon.Tambo Gina, kulwa Ssaabaminisita Dlamini Russell, atabadde mu ggwanga, nebawayamu ku ngeri yokunywezaamu enkolagana y’Obwakabaka ku njuyi zombi.

Ensisinkano eno eyindidde ku Hilton Garden Inn mu kibuga ekikulu Mbabane ku Mmande.

Kamalabyonna Mayiga bano  abategeezezza nti ekigendererwa ky’obugenyi bwaliko kuliko; okulaba abantu ba Kabaka abali Eswatini wamu nokutongoza olukiiko ttabamiruka olugatta abantu ba Kabaka abali mu mawanga ag’enjawulo agali mu maserengeta ga Africa. 

Ono abayitiddemu ku  byafaayo n’ engeri Uganda gyeyatondebwamu n’Obwakabaka engeri gyebwaggyibwawo mu myaka gy’e 60 ssaako n’emirimu Buganda gyekola okuyimirizzaawo abantu baabwo.

Kamalabyonna Mayiga agamba nti enjawulo eri nti obwakabaka bwa Eswatini bwetongodde era omutwe gw’ensi yaabwe ye King Mswati III ate mu Uganda y’ensi eyetongodde ekulemberwa Pulezidenti.

Owek. Mayiga asuubizza okukolagana n’obwakabaka bwa Eswatini mu nsonga z’ennono n’enkulaakulana naddala mu byenjigiriza, eby’obulamu n’ebyenfuna by’abantu okulaba nga bakyuusa embeera zaabwe.

Minisita Tambo Gina abayitidde a ku byafaayo ebitonotono ebyo bwakabaka bwa Eswatini n’engeri gyebaasobola okubukuuma nebutabulira mu South Africa ennene ennyo n’engeri gyebaasobola okwekuuma abazulu abaabalwanyisa ennyo.

Obugenyi bwa Katikkiro Mayiga bwajjidde mukiseera nga  King Mswati III ali mu lusirika era talabika mu bantu nga emirimu gikolebwa Ssaabaminisita eyasangiddwa e Botswana ku mirimu gy’e ggwanga.

Yeebazizza omubaka wa Ssaabasajja Kabaka mu Eswatini Oweek. Paul Mulindwa n’omubaka wa Uganda Rt. Honorary Consul Tobias Kamugisha olw’okukola enteekateeka okusisinkana abantu ba Kabaka n’abakungu ba Gavumenti ya King Mswati III.

Ku ludda lw’Obwakabaka ensisinkano yetabiddwamu; Minisita wa Kabaka owa Gavumenti ez’Ebitundu n’ensonga za Buganda ebweru, Owek. Joseph Kawuki, omubaka wa Kabaka mu Eswatini Owek. Paul Mulindwa, Omukungu John Fred Kiyimba Freeman, akulira eby’abagenyi mu bwakabaka, Omuk. David Ntege, Omuwandiisi wa Katikkiro ow’ekyama Muky. Allen Namukasa Kafuluma, ne Muky. Christine Nampijja Kalanzi owa pulotoko.

Ate ku ludda lwa Eswatini Bertram Stewart omuwandiisi omukulu mu Woofiisi ya Ssaabaminisita Dlamini Russell Ruso.

Katikkiro Mayiga alambudde ejjalulizo ly’ ebirowoozo ebisobola okukyuusa obulamu

Bya Musasi Waffe

Eswatini

Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga alambudde  ejjalulizo ly’ebirowoozo ebyenjawulo ebisobola okukyuusa obulamu bw’abantu n’Ensi li Royal Science and technology park ne Songcondvongcondvo mu kibuga Phocweni.

Bano bawa omukisa naddala abavubuka abalina ebirowoozo ebyenjawulo nebabifumbira mu kifo kino nebisobola okuvaamu ebintu ebyenjawulo ebigasa ensi.

Owek. Mayiga agamba nti ebirowoozo bino bisobola okuvaamu ebintu ebipya omuli ebya tekinologiya, eby’amawulire, era Ensi nnyingi zirina ebifo bwebiti mwebayitira okuwa abavubuka obusobozi okusinziira ku buyiiya bwabwe.

Ono annyonyodde  nti abavubuka abatikkirwa ku Buganda Royal Institute balina ebirowoozo bingi era beetaaga okuwagirwa mu ngeri ng’eno kubanga bisobola okuvaamu buzineensi ezamaanyi ezisobola okuleetera Ensi obugagga.

Wano waasabidde  aba Buganda Royal Institute okutwala eby’okuyiga bino naddala nga babangula abavubuka basobole okubeera ab’omugaso mu ggwanga.

Kitegerekese nti ebifo bino byatandikibwawo King Mswati III nga ayagala abavubuka babeere bayiiya era kijja kukyuusa obwakabaka bwa Eswatini mukiseera ekitali kyawala.