Omumyuka Owookubiri owa Katikkiro Owek. Robert Waggwa Nsibirwa akuutidde abakulembeze mu Gavumenti Eyawakati okufaayo okulambika obulungi abantu ku nteekateeka ezireetebwa okubakulaakulanya bave mu bwavu.
Obubaka buno, Owek. Nsibirwa abuwadde aggulawo olukiiko lw’ lw’okukubaganya ebirowoozo ku mbalirira ya Disitulikiti y’e Wakiso ku ku kitebe ku Lwokusatu.
Owek. Nsibirwa agamba nti mu nkola nga Parish Development Model, Emyooga n’endala ensimbi zisaana kuyisibwa mu bibiina by’obweggasi ebiwandiise era ebimanyiddwa obulungi sso ssi kufuna bantu beewandiisa mu nkola ya kiyita mu luggya olufuna ssente ebibiina nebisasika ekigendererwa ekinene nekifa.
Owek. Nsibirwa yeebazizza enkolagana eriwo wakati w’obukulembeze ku Disitulikiti n’Obwakabaka era asuubiza nti Obwakabaka bwakuwagira enteekateeka za Disitulikiti mu byobulambuzi, ebyettaka, ebyenjigiriza, ebyobutondebwensi kasita biba bya kutumbula mbeera za bulamu bw’abantu.
Ye Ssentebe wa Disitulikiti y’e Wakiso, Hon. Matia Lwanga Bwanika yeebazizza Obwakabaka olw’okubeera eky’okulabirako mu nsonga z’okusitula embeera z’obulamu bw’abantu ng’agamba nti bwe bwatunuulira Embalirira y’Obwakabaka nga mulimu ennyingo nnyingi ezisobola okubayamba ng’abakulembeze ba Disitulikiti okulabirako okuteekerateekera be bakulembera.