Babangudde Abaami abakulira Amasaza omudumu gw’Amafuta wegunaayita

Amawulire Mar 13, 2025
Share This

Bya Gerald Mulindwa

Abaami b’Amasaza agali mu bitundu omunaayisibwa omudumu gw’amafuta wamu n’abatwala eby’ettaka ku masaza babanguddwa ku nteekateeka y’okusima amafuta n’engeri omulimu guno gyegugenda okugasaamu bannansi.

Omusomo guno gubaweereddwa ebitongole ebiri ku mulimu gw’okusima amafuta gano nga bakuliddwamu Uganda National Oil Company (UNOC) ne Minisitule y’Ebyobugagga eby’omu ttaka nga guyindidde mu Golden Castle Hotel mu Hoima.

Abaami bano banyonnyoddwa ensengejja,  entunda awamu n’entambuza y’amafuta okutuuka ku ssundiro lyago mu bitundu eby’enjawulo omuli; Buganda, Bunyoro awamu n’ebitundu ebirala.

Aba UNOC balambuzza Abaami bano emitendera amafuta mwe gayita olwo nabo basobole okutwala n’okusaasaanya amawulire amatuufu ku nsonga y’amafuta ate n’okwongera okubawa amagezi ag’enjawulo ku nsonga y’amafuta n’engeri gye yandikwatiddwamu mu bitundu byabwe.

Mu bubaka obubaweereddwa, Mukyala Sandra Wobusobozi ne banne abatembeeta ensonga y’abagenyi mu kitongole kino, basiigidde abaami ba Kabaka ekifaananyi kya  gavumenti ku nsonga y’amafuta omuli, okutwala obudde okwekkeneenya enkwata yago, obugumiikiriza, okukubiriza abantu okusoma ku nsonga y’amafuta wano n’e Bulaaya, okussaawo ebikozesebwa ku nsonga eno okutuuka ku mutendera guno gwe baliko ogw’okutandika okufulumya amafuta.

Aba UNOC bakubirizza abantu ba Ssaabasajja Kabaka okweteekerateekera ekiseera ekiddako olw’emiganyulo egy’etoolodde ensonga y’amafuta mu bitundu bino ebya Hoima n’ebitundu amafuta gye gagenda okuyita.

 Oluvannyuma Abaami ba Kabaka balambuziddwa enzizi z’amafuta mu bitundu bye Hoima, Kikuube ne Buliisa.

Amasaza agoogerwako kuliko; Buddu, Buweekula, Gomba, Mawogola, Kooki ne Kabula.

LANGUAGE