Ow’emyaka 22 alima emmwanyi e Gomba asnyudde Katikkiro

Amawulire Aug 13, 2025
Share This

Bya Pauline Nanyonjo

Kanoni- Gomba

Omuvubuka Edgar Kitayimbwa wa myaka 22 awangaalira mu ggombolola ya Ssaabawaali Kyegonza ku kyalo Kanoni mu Gomba, asoma ku Cavendish University era asuubira okutikkirwa diguli mu ‘software engineering’. Ono alima n’emmwanyi nga mu kiseera kino alina yiika emu n’ekitundu.

Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’abadde alambula abalimi b’emmwanyi e Gomba atuuseeko ne ku nnimiro y’omuvubuka ono era asinzidde wano n’ategeeza nti omuvubuka yenna bw’afuna ebirowoozo by’ekikulu awangula ensi naye oyo ayagala akawewevu asigalira mabega.

Katikkiro asabye abavubuka okukomya okwesaasira, okwejalabya n’okumalira ssente mu kwesanyusa n’okwewummuzza. Annyonnyodde nti oyo awangula Ensi ateekwa okwewaayo okutegana, okukoowa, n’okwerekereza.

“Tosobola kwewaayo na maanyi go gonna n’ebirowoozo byo byonna n’oviraamu awo era abaagala ebyobwerere bakimanye nti tebibeerera” Owek. Mayiga

Owek. Mayiga agamba nti Obwakabaka bwagala abavubuka okutandika okutambula olugendo lw’obulamu bwabwe nga bava mu birooto bateeke ebirowoozo mu nkola.

Wano, Minisita w’ebyobulimi, obulunzi n’obwegassi Hajj Amisi Kakomo alaze nti enkulaakulana eyalubirirwa okuva mu emmwaany terimba kati erabwako okuli; abaana okusoma, amaka akuba amatebenkevu ng’abantu basobola okwetusaako ebyetaago. Bwatyo asabye abavubuka okulabira ku mulimi Edgar Kitayimba eyakozesa obulungi ettaka eryamuwebwa kitaawe ne nnyina n’alisimbako emmwaanyi.

Omulimi Edgar Kitayimbwa annyonyodde nti emmwanyi ze zi musobozesa okutuuka waali naddala mu kaseera kano nga agenda okutikkirwa digiri ye esooka. Akubiriza bavubuka banne naddala abasomyeko okutuuka ku ddaala naye lyaliko erya ddigiri okwenyigira mu byobulimi, bafune ensimbi ze banakolamu egyo emirimu gye baagala oba gye beegomba.

LANGUAGE